bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Genesis 18
Genesis 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 19 →
1
Awo Mukama n'alabikira Aburahamu awali omuvule gwa Mamure. Aburahamu bwe yali ng'atudde mu mulyango gw'eweema ye mu ttuntu,
2
n'ayimusa amaaso ge, n'alengera abasajja basatu nga bayimiridde. Bwe yabalaba, n'adduka mbiro okubasisinkana. N'avuunama ku ttaka,
3
n'agamba nti: “Mukama wange, kkiriza okyameko ew'omuweereza wo, tomuyitako, nkwegayiridde.
4
Ka baleete amazzi munaabe ku bigere, muwummulireko mu kisiikirize ky'omuti,
5
nga nange bwe ndeeta akookulya muddemu amaanyi, mulyoke mugende, kubanga we muzze wa muweereza wammwe.” Ne bagamba nti: “Kola bw'otyo nga bw'oyogedde.”
6
Aburahamu n'ayanguwa n'ayingira mu weema, n'agamba Saara nti: “Teekateeka mangu ku buwunga obusinga obulungi, obugoye, ofumbe emmere.”
7
Awo Aburahamu n'adduka n'ayingira mu ggana, n'alondamu ennyana ennyirivu era ensava, n'agikwasa omuweereza, eyagitta n'agifumba mangu.
8
Aburahamu n'addira omuzigo n'amata n'ennyama y'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso g'abasajja abasatu, ye n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya.
9
Ne bamubuuza nti: “Mukazi wo Saara ali ludda wa?” N'addamu nti: “Ali mu weema.”
10
Mukama n'agamba nti: “Omwaka ogujja mu kiseera nga kino, nja kukomawo, era Saara mukazi wo aliba azadde omwana ow'obulenzi.” Saara yali mabega wa Aburahamu ku mulyango gw'eweema, ng'awulira.
11
Aburahamu ne Saara baali bakaddiye nnyo, Saara nga takyabeera mu biseera by'empisa y'abakazi eya buli mwezi.
12
Saara n'aseka munda ye, n'agamba nti: “Nga bwe mmaze okukaddiwa bwe nti, era nga ne baze naye akaddiye, nkyasobola okufuna ku ssanyu eryo?”
13
Awo Mukama n'agamba Aburahamu nti: “Lwaki Saara asese, n'agamba nti: ‘Ddala ndizaala omwana nga nkaddiye?’
14
Waliwo ekizibuwalira Mukama? Nga bwe nagambye, ndikomawo wano mu kiseera nga kino omwaka ogujja, era Saara aliba azadde omwana wa bulenzi.”
15
Saara ne yeegaana nti: “Sisese,” kubanga yatya. Oli n'addamu nti: “Leka kwegaana, osese.”
16
Awo abasajja ne basituka, ne balaga mu kifo we balengerera Sodoma. Aburahamu n'agenda nabo okubawerekerako.
17
Mukama n'agamba nti: “Sijja kukisa Aburahamu kye ŋŋenda okukola,
18
kubanga bazzukulu be balifuuka eggwanga eddene ery'amaanyi, era mu ye, amawanga gonna ag'oku nsi mwe galiweerwa omukisa.
19
Kyennava mmulonda, alyoke alagire abaana be ne bazzukulu be okumpuliranga, nga bakola ebituufu n'eby'amazima, ndyoke ntuukirize bye namusuubiza.”
20
Awo Mukama n'agamba nti: “Okwemulugunyiza Sodoma ne Gomora nga bwe kuli okungi, era abaayo nga bwe bali aboonoonyi ennyo,
21
ka nzikeyo mmanyire ddala oba ng'ebyogerwa ne bintuukako bituufu.”
22
Awo abasajja ababiri ne bavaawo ne balaga e Sodoma, naye Aburahamu n'asigala ng'ayimiridde mu maaso ga Mukama.
23
Aburahamu n'asembera kumpi, n'abuuza nti: “Ddala abatalina musango onoobazikiririza wamu n'abalina omusango?
24
Mu kibuga bwe munaabeeramu abantu amakumi ataano abatalina musango, onoozikiriza ekibuga kyonna, n'otokisonyiwa olw'abatalina musango amakumi ataano abakirimu?
25
Toyinza kukola ekyo, okutta abatalina musango awamu n'abalina musango. Ekyo toyinza kukikola, okubonereza abatalina musango. Omulamuzi w'ensi yonna ayinza obutasala mazima?”
26
Mukama n'agamba nti: “Bwe nnaasanga mu Sodoma abantu amakumi ataano abatalina musango, nja kusonyiwa ekibuga kyonna olw'okubeera bo.”
27
Aburahamu n'addamu nti: “Nsonyiwa, nze omuntu obuntu, okuguma okwogera naawe Afugabyonna.
28
Naye singa ku makumi ataano abatalina musango, kunaabulako abataano, era onoozikiriza ekibuga kyonna, kubanga abataano babulako?” Mukama naddamu nti: “Sijja kukizikiriza bwe nnaasangamu amakumi ana mu abataano.”
29
Aburahamu era n'agamba nti: “Oboolyawo munaasangibwamu amakumi ana bokka.” Mukama n'addamu nti: “Olw'amakumi ana, sijja kukizikiriza.”
30
Aburahamu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Afugabyonna, tosunguwala, era ka njogere. Oboolyawo munaasangibwamu amakumi asatu.” N'addamu nti: “Siikizikirize bwe munaasangibwamu amakumi asatu.”
31
Aburahamu n'agamba nti: “Nsonyiwa okuguma okwogera naawe, Afugabyonna. Oboolyawo munaasangibwamu amakumi abiri.” Mukama n'addamu nti: “Sijja kukizikiriza olw'abo amakumi abiri.”
32
Aburahamu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Afugabyonna, tosunguwala, era ka njogere nate omulundi gumu gwokka. Oboolyawo munaasangibwamu kkumi.” N'addamu nti: “Sijja kukizikiriza olw'abo ekkumi.”
33
Mukama bwe yamala okwogera ne Aburahamu, n'agenda, ne Aburahamu n'addayo eka.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50