bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 1
Job 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 2 →
1
Waaliwo omusajja mu nsi ya Wuzzi, erinnya lye Yobu. Omusajja oyo yali muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, assaamu Katonda ekitiibwa, era nga yeewala okukola ebibi.
2
Yalina abaana ab'obulenzi musanvu, n'ab'obuwala basatu.
3
Yalina endiga kasanvu, eŋŋamiya enkumi ssatu, n'emigogo gy'ente ezirima ebikumi bitaano, n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n'abaweereza bangi nnyo ddala. Omusajja oyo ye yali asinga obugagga mu bantu b'ebuvanjuba bonna.
4
Batabani be baagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli omu ku bo mu mpalo, ne batumya bannyinaabwe abasatu, ne babayita okulya n'okunywa nabo.
5
Ennaku ez'embaga zaabwe bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n'abatukuza. Yagolokokanga mu makya, n'aweerayo buli omu ku bo ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga yagambanga nti: “Oboolyawo abaana bange baliko ebibi bye baakoze, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga bulijjo.
6
Awo olunaku lwali lumu, bannaggulu ne bajja okweyanjula mu maaso ga Mukama. Ne Sitaani naye n'ajjira mu bo.
7
Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n'addamu Mukama nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n'okugitambulatambulamu.”
8
Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Olabye omuweereza wange Yobu? Tewali amwenkana ku nsi. Omusajja oyo ye muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, anzisaamu ekitiibwa, ne yeewala okukola ebibi.”
9
Awo Sitaani n'addamu Mukama nti: “Yobu akussizaamu bwereere ekitiibwa?
10
Omukoledde olukomera okumwetooloola, ye n'amaka ge, n'ebibye byonna by'alina. By'akola obiwadde omukisa, n'obugagga bwe bweyongedde obungi mu nsi.
11
Naye kaakano golola omukono gwo omuggyeko byonna by'alina, ajja kukwegaana ng'olaba.”
12
Mukama n'agamba Sitaani nti: “Kale byonna by'alina, biri mu buyinza bwo. Kyokka ye tomukolako kabi.” Awo Sitaani n'ava mu maaso ga Mukama.
13
Awo olunaku lwali lumu, batabani ba Yobu ne bawala be, bwe baali nga baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
14
omubaka n'ajja eri Yobu n'agamba nti: “Ente bwe zibadde nga zirima, nga n'endogoyi ziziriraanye, zirya,
15
Abasabeya ne bazizinda, ne bazinyaga. Ne bakozesa ebitala, ne batta abaweereza bo. Era nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
16
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'agamba nti: “Omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, ne gwokya endiga n'ababadde bazirunda, ne gubazikiriza. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
17
Yali ng'akyayogera, omulala n'agamba nti: “Abakaludaaya, nga beegabanyizzaamu ebibinja bisatu, bazinze eŋŋamiya, ne bazinyaga. Ne bakozesa ebitala, ne batta abaweereza bo. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
18
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja n'agamba nti: “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
19
omuyaga ogw'amaanyi ne guva mu ddungu, ne gukuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwako, era bafudde. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
20
Awo Yobu n'asituka, n'ayuza ekyambalo kye olw'okunakuwala, n'amwa omutwe gwe, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Katonda.
21
N'agamba nti: “Mu lubuto lwa mmange navaamu ndi mwereere, era ndifa ndi mwereere. Mukama ye yampa ebyo, era Mukama ye aggyeewo. Kale Mukama yeebazibwe.”
22
Mu ebyo byonna ebyagwawo, Yobu teyayonoona, wadde okunenya Katonda.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42