bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 29
Job 29
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 30 →
1
Awo Yobu n'ayongera okwogera, n'agamba nti:
2
“Singa mbadde nga bwe nabanga edda! Ne mba nga mu biseera biri, mwe nalabirirwanga Katonda!
3
Ettaala ye bwe yayakiranga awo ku mutwe gwange, okummulisiza mpite mu kizikiza!
4
Mu biseera ebyo nabanga bulungi, nga Katonda ye munnange, ataasa n'amaka gange.
5
Olwo Omuyinzawaabyonna yabeeranga wamu nange; n'abaana bange nga banneetoolodde.
6
Ng'amata nganaabya n'ebigere; nga n'olwazi lukulukuta omuzigo gwe bakamulirako, mu mizayiti gyange.
7
Bwe navangayo okujja mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, ntereeze entebe yange mu luggya,
8
abavubuka bandabanga ne banviira. Abakadde ne basituka ne bayimirira;
9
Abakulembeze ne basirika, ne bakwata ne ku mumwa.
10
N'abakungu ne batanyega, wadde okubaayo awuuna!
11
“Abaawuliranga bye njogera n'abandabanga, nga bankulisa. Nga banjogerako birungi byereere.
12
Kubanga nawonyanga omwavu ansaba obuyambi ng'akaaba, n'eyafiirwako kitaawe, atalina amukwata ku mukono.
13
Be nawonya okufa bansabiranga. Bannamwandu bye nabakolera byabasanyusa ne bayimba.
14
Bulijjo nakolanga bituufu, nga bye binneetooloola. Obwenkanya bwange ne buba ng'ekyambalo kyange, n'ekitambaala ky'oku mutwe.
15
Nakulemberanga bamuzibe, ne mpaniriranga abalema.
16
Nafuuka kitaawe w'abaavu. Nekkaanyanga ensonga z'abo be simanyi.
17
Namenyanga emba z'aboonoonyi Ne mbaggya omuyiggo mu mannyo
18
“Nalowooza nti ndifiira mu kisu kyange, nga mpezezza ennaku ze mpangadde.
19
Nali ng'omuti ogulandizza emirandira awali amazzi; ng'omusulo gugwa ku matabi okumala ekiro kyonna.
20
Naweebwanga ekitiibwa bulijjo n'amaanyi gange gaddanga buto.
21
Abantu baalindanga kasirise ne bawuliriza mbabuulirire.
22
Bye njogedde bwe byaggwanga, nga tewali kye bongerako. Ebigambo byange ne bibannyikira.
23
Bannindiriranga ng'abalindirira enkuba. Ne kiba ng'abalimi bwe baaniriza ekire ky'enkuba ya ttoggo.
24
Be nasekerangako nga tebayinza na kukkiriza! Akaseko kange ku maaso, kaabazzangamu amaanyi.
25
Nabeeranga mukulu mu bo ne mbasalirangawo eky'okukola. Nababeerangamu nga kabaka mu ggye lye; era ng'omuntu akubagiza abakungubaga.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42