bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 5
Job 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 6 →
1
“Kaakano koowoola, anaakuyitaba ye ani? Onookyukira malayika ki nti: ‘Nnyamba?’
2
Kubanga okweraliikirira kutta omusirusiru; N'okukwatibwa obuggya, kutta abatalina magezi.
3
Nalaba omusirusiru nga munywevu. Naye amangwago ne nkolimira ekifo mw'abeera.
4
Abaana be baba mu kabi, babetenterwa mu mulyango. Era tewaba abawonya.
5
By'akungula biriibwa abayala, ne baggyayo n'ebiri eyo mu maggwa. Obugagga bwe bwegombwa ababululunkanira.
6
Kubanga Obuyinike tebusibuka mu nfuufu. Ne mu ttaka, si mwe muva obunaku.
7
Naye abantu bazaalirwa kubonaabona, ng'ensasi z'omuliro bwe zimansukira mu bbanga.
8
“Naye nze ku bwange, nandyebuuzizza ku Katonda, Oyo gwe nandyanjulidde ensonga.
9
Ye akola ebikulu ebitategeerekeka, N'ebyamagero ebitabalika.
10
Atonnyesa enkuba ku nsi, N'afukirira ennimiro.
11
Abeetoowaza abagulumiza. Akubagiza abanaku, n'abatuusa ku ddembe.
12
Afumya enkwe z'abakalabakalaba; zikoma ne zigwa butaka.
13
Akwasa abagezi mu bugezigezi bwabwe. Era akomya mangu okuteesa kw'abalina enkwe.
14
Baba mu kizikiza emisana, ne bawammanta mu ttuntu ng'ekiro.
15
Naye Katonda awonya abanaku ekitala ky'akamwa k'abakambwe. Abali mu bwetaavu abawonya okunyigirizibwa ab'amaanyi.
16
Olwo abaavu ne baba n'essuubi, ababi ne bataddayo kunyega.
17
“Omuntu Katonda gw'agolola mazima aba wa mukisa. Kale tonyooma kukangavvulwa Muyinzawaabyonna.
18
Ye anyiga ebiwundu by'afumise. Engalo ze ezikuba, ze ziwonya.
19
Mu buli buyinike akuwonya, Bulijjo n'otobaako kabi.
20
Anaakuwonyanga okufa ng'enjala egudde. Mu lutalo n'akuwonya okuttibwa ekitala.
21
Anaakuwonyanga abakuwaayiriza. Tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga.
22
Onoosekereranga enjala era n'okuzikirira, n'ensolo z'omu ttale n'otozitya.
23
Kubanga mu nnimiro yo temuubenga mayinja; n'ensolo z'omu ttale teziikulumbenga.
24
Oneekakasanga nti mu nnyumba yo oli mirembe; era ne wekkaanya nti ensolo z'omu ggana lyo tekuliiko ekubuze.
25
Era oneekakasanga nti bazzukulu bo ba kwala, n'ezzadde lyo liryeyongera obungi ng'omuddo ogw'oku ttale.
26
Olifa n'oteekebwa mu ntaana ng'omaze okuwangaala, ng'eŋŋaano gye bakungudde n'ereetebwa ewuulwe.
27
Ebyo twabinoonyereza, ne tulaba nga bya mazima. Biwulire obimanye, obiggyemu omugaso.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
Recommended Reading
Commentary
Job Commentaries
→
Devotional
Job Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→