bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 9
Job 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 10 →
1
Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti:
2
“Mazima mmanyi nga bwe kityo bwe kiri. Naye omuntu ayinza atya okuwoza ne Katonda n'asinga?
3
Bw'ayagala okuwoza naye, Katonda ayinza okubuuza ebibuuzo olukumi, omuntu n'atayinza kumuddamu na kimu.
4
Katonda mugezi era wa maanyi. Ani amuwakanya n'asinga?
5
“Asiguukulula ensozi nga talina gw'abuulidde, mu busungu bwe n'azisaanyaawo.
6
Aleeta okukankana kw'ensi wansi ne wayuuguuma, n'akankanya empagi z'ensi.
7
Alagira enjuba nti: ‘Tovaayo!’ Emmunyeenye azibikkako ne zitayaka.
8
Ye abamba eggulu obw'omu, ye akkakkanya amayengo g'ennyanja.
9
Yawanga emmunyeenye ku ggulu eziyitibwa Eddubu, Omuyizzi ne Kakaaga, n'ez'omu bukiikaddyo.
10
Akola ebikulu ebitategeerekeka n'ebyamagero ebitabalika.
11
Kale ampitako ne simulaba. Yeeyongerayo, kyokka ne simwetegereza.
12
Bw'atwala ekintu olw'amaanyi ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamubuuza nti: ‘Okola ki?’
13
Obusungu bwa Katonda tebukoma. Awangula abalabe be, abayambi ba Rahabu.
14
“Kale nnyinza ntya okuzuula ebigambo eby'okuwoza naye nga neetaasa?
15
Wadde siriiko kye nvunaanibwa, siyinza kwewolereza. Wabula omulamuzi wange gwe neegayirira ansaasire.
16
Ne bwe nandimuyise okujja okuwoza n'akkiriza, sandikkirizza nti awulidde kye ŋŋamba.
17
Ankubisa kibuyaga, n'annyongera ebiwundu awatali nsonga.
18
Taŋŋanya kussa ku mukka, wabula ambonyaabonya.
19
Bwe kuba kwegera maanyi, ye ye agansinza. Bwe kuba kuwoza musango, ani ananteerawo obudde obw'okuguwulira?
20
Wadde siriiko kye nvunaanibwa, bye njogera bigunsalira okunsinga. Wadde nga sirina musango, ajja kulaga bwe ndi omukyamu.
21
Siriiko kye nvunaanibwa naye neetamiddwa obulamu.
22
Byonna kye kimu. Kyenva ŋŋamba nti azikiriza abataliiko kye bavunaanibwa n'abakola ebibi.
23
Akabi bwe kagwa ne kattirawo abantu, akudaalira abataliiko kye bavunaanibwa, ababonaabona.
24
Katonda yawaayo ensi mu mikono gy'ababi. Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo. Oba si Katonda, kale ani?
25
“Ennaku zange ziri ku misinde okusinga n'omuddusi. Ziggwaako nga sizifunyeemu kalungi
26
Ziyise ng'amaato ag'embiro ng'empungu ekka ku muyiggo gwayo.
27
Bwe ŋŋamba nti: ‘Ayi Katonda, ka neerabire okwemulugunya kwange, mmweenyeeko nsanyuke,’
28
ne nzijirwa okutya obuyinike bwange, kubanga mmanyi taligamba nti siriiko kye nvunaanibwa.
29
Omusango nga bwe gunansinga, kale nteganira ki obwereere?
30
Ne bwe nnaanaaba amazzi ag'omuzira ne ntukuza engalo zange ne sabbuuni,
31
era ononsuula mu kinnya ekijama n'engoye zange ne zintamwa.
32
Kubanga singa Katonda abadde muntu buntu nga nze, nandimwanukudde, ne mpoza naye.
33
Naye tewali mulamuzi wakati waffe, anaatuwozesa n'atusalirawo.
34
Katonda alekere awo okunkubya omuggo gwe; aleme okunkanga n'okuntiisa.
35
Katonda nga bw'antiisizza, siyinza kwennyonnyolako nga bwe nandyagadde.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42