bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 21
Job 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 22 →
1
Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti:
2
“Muwulirize bulungi bye ŋŋamba kye kikubagizo kyokka kye mbasaba.
3
Munzikirize njogere, bwe nnaamala, munaayongera ne muduula.
4
Nze ku bwange seemulugunyiza bantu. Kale lwaki siba atali mugumiikiriza?
5
Muntunuulire, mwewuunye era mukwate ne ku mumwa!
6
Bwe ndowooza ku kyantuukako, neekanga, ne neesisiwala nzenna!
7
Lwaki bo abakola ebibi bawangaala ne bakaddiwa, nga ba buyinza, ba maanyi?
8
Bafuna abaana n'abazzukulu ne babeerawo okulaba bwe bakula.
9
Amaka gaabwe tewaba bigatiisa ne Katonda tagabonereza n'akatono.
10
Ebisolo byabwe biwaka ne bizaala bulungi.
11
Bazaala omuyeeye gw'abaana, ne baligita ng'obuliga.
12
Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, ne banyumirwa eddoboozi ly'omulere.
13
Bafuna ebirungi mu bulamu era ne bafiira mu ddembe.
14
Bagamba Katonda nti: ‘Tuveeko! Tetwetaaga kumanya by'otwagaza kukola.’
15
‘Ye ani Omuyinzawaabyonna tulyoke tumuweerezenga? Kitugasa ki okubaako kye tumusaba?’
16
“Bo bagamba nti bawangaala lwa maanyi gaabwe. Amagezi g'ababi sigakkiriza.
17
Ettaala y'ababi ddi lwe yali ezikiziddwa? Akabi ddi lwe kaali kabatuuseeko? Era ddi Katonda lwe yali ababonerezza mu busungu,
18
ne baba ng'ebisasiro ebifuuyibwa embuyaga, oba ng'ebisusunku ebitwalibwa kikuŋŋunta?
19
Mugamba nti: ‘Katonda abonereza abaana olw'ebibi bya kitaabwe.’ Katonda abonereze oyo ye yennyini akimanye nti abonerezeddwa lwa bibi bye ebyo.
20
Ye yennyini ye aba alaba bw'azikirizibwa, alege ku busungu bw'Omuyinzawaabyonna.
21
Kubanga bw'amala okufa afaayo ki ku bituuka ku b'omu maka ge?
22
Omuntu ayinza okuyigiriza Katonda asalira omusango n'abo abali mu bifo ebya waggulu?
23
Waliwo afiira mu maanyi ng'atereeredde ddala ali bulungi:
24
ng'omubiri gwe mugevvu, munyirivu, ng'alabikira ddala nga muvubuka.
25
Omulala afa nga mwennyamivu nga tabangako na musanyufu.
26
Bombi bagalamira bumu mu nfuufu ne babikkibwako envunyu.
27
“Ddala ebirowoozo byammwe mbimanyi n'akabi ke muteesa okunkolako.
28
Kubanga mubuuza nti: ‘Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Amaka g'abaakolanga ebibi gali ludda wa?’
29
Temwogeranga na batambula ŋŋendo? Temuwuliranga mawulire ge badda nago,
30
nti akabi lwe kagwawo akola ebibi ye awonawo? Ne Katonda lw'asunguwala, era akola ebibi gw'ataliza?
31
Ani yeesimbawo mu maaso ge amulumirize omusango gw'azzizza? Ky'akoze ani akimusasula?
32
Bw'atwalibwa mu ntaana amalaalo ge bagakuuma.
33
Abantu nkumu abawerekera nga bagenda okumuziika. Abamu bakulemberamu, abalala ne bavaako emabega, ne bamuyiwako bulungi akataka.
34
Kale mmwe munankubagiza mutya n'ebigambo ebitalina makulu? Nga ne bye munziramu birimu bulimba busa?”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42