bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 12
Job 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 13 →
1
Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti:
2
“Kya mazima mmwe ddoboozi ly'abantu. Bwe mulifa, abagezi baliggwaawo.
3
Naye nange ntegeera nga mmwe temunsinganga n'akatono. Era ani atamanyi ebyo bye mubadde mwogerako.
4
Nsekererwa mikwano gyange, nze eyasabanga Katonda n'anziramu. Nze omuntu akola ekituufu, ataliiko kye nvunaanibwa, kaakano nsekererwa abantu.
5
Atannalaba nnaku, asekerera ajeera. Abonaabona era ye ajjirwa ebizibu.
6
Amaka g'abanyazi gaba bulungi, n'abo abanyiiza Katonda tebalina babatiisa. Amaanyi gaabwe ge beesiga nga Katonda.
7
“Naye nno buuza ebisolo binaakuyigiriza, n'ebinyonyi binaakubuulira.
8
Oba yogera n'ensi, eneekuyigiriza n'ebyennyanja binaakunnyonnyola.
9
Mu bitonde byonna ebyo, ekitamanyi kiruwa nti ebibeerawo byonna bikolebwa Mukama?
10
Buli kintu ekiramu kiri mu mikono gye. Obulamu bw'abantu nabwo ye abufuga.
11
Omuntu by'awulira tayawulamu bituufu na bitali bya mazima, nga bw'alya ku mmere n'ayawula ewooma n'etewooma?
12
Amagezi gaba na bakadde, n'okutegeera kuba mu bawangadde.
13
“Katonda ye alina amagezi n'obuyinza, ye alina entegeka n'okutegeera.
14
Katonda ky'amenya, tewali akizimba buggya. Katonda gw'aggalira, tewali amuggulira.
15
Bw'aziyiza enkuba okutonnya, wabaawo ekyeya. Bw'agireka n'etonnya, omujjuzi gw'amazzi ne gubikka ensi.
16
Ye w'amaanyi era omuwanguzi. Alimbibwa n'oyo alimba bali mu buyinza bwe.
17
Abafuzi b'ensi abamalamu amagezi. Abalamuzi abafuula abasirusiru.
18
Ayambula bakabaka ebyambalo ebyekitiibwa, n'abasiba enkoba ezisibibwa abaddu.
19
Bakabona abamalamu amagezi, abafuzi abaggya mu buyinza.
20
Asirisa abo abantu be beesiga, n'abakadde abaggyako okutegeera.
21
“Aleka abakungu okunyoomebwa, ab'obuyinza abamala amaanyi.
22
Ayolesa ebikusike eby'ebuziba, amulisa ebikweke mu nzikiza.
23
Akulaakulanya amawanga ate n'agazikiriza. Agafuula ag'amaanyi, ate n'agasaanyaawo.
24
Abafuzi b'abantu abafuula abasiru, n'ababungeeseza eyo awatali kkubo mu ddungu.
25
Bawammantira mu kizikiza ekikutte ennyo, n'abaleetera okutagatta ng'abatamiivu.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42