bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 42
Job 42
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
1
Awo Yobu n'addamu Mukama ng'agamba nti:
2
“Mmanyi ng'oyinza byonna. Era ky'oba osazeewo okukola, tewali kikiziyiza.
3
Obuuzizza nti: ‘Ono ani aziyiza entegeka zo okutegeerekeka, ng'ayogeza obutamanya?’ Ddala nayogedde ku bintu bye sitegeera, ebimpitiriddeko, ebyannemye okumanya.
4
Oŋŋambye nti: ‘Wuliriza njogere Nkubuuze ebibuuzo onziremu.’
5
Nawuliranga buwulizi bye bakwogerako, Naye kaakano nkwerabiddeko n'agange.
6
N'olwekyo nneemenye ne nneenenya mu nfuufu n'evvu.”
7
Awo Mukama bwe yamala okwogera ne Yobu ebigambo ebyo, n'agamba Elifaazi Omutemani nti: “Nkusunguwalidde nnyo ggwe ne banno bombi, kubanga temunjogeddeeko bituufu ng'omuweereza wange Yobu bw'ayogedde.
8
Kale kaakano mutwale ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu eri omuweereza wange Yobu, muweeyo ku lwammwe ekiweebwayo ekyokebwa. Omuweereza wange Yobu abasabire. Oyo gwe nnakkiriza, nneme kubakolako mmwe, ng'obusirusiru bwammwe bwe busaanira, kubanga temunjogeddeeko bituufu ng'omuweereza wange Yobu by'ayogedde.”
9
Awo Elifaazi Omutemani, ne Biludaadi Omusuuhi, ne Zefari Omunaamati ne bagenda, ne bakola nga Mukama bw'alagidde. Mukama n'akkiriza Yobu bye yabasabira.
10
Awo Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye, Mukama n'amuddizaawo obugagga bwe, era n'amuwa bungi emirundi ebiri okusinga bwe yalina olubereberye.
11
Awo baganda ba Yobu bonna ne bannyina, ne bajja, ne baliira wamu naye ekijjulo mu nnyumba ye. Ne bamukubagiza olw'ebizibu byonna, Mukama bye yamutuusaako. Buli omu ku bo n'amuleetera ekitundu kya ffeeza n'empeta eya zaabu.
12
Mukama n'awa Yobu omukisa mu kiseera ky'obulamu bwe ekyasembayo, okusinga ne mu kyasooka. Yobu n'aba n'endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n'eŋŋamiya kakaaga, n'emigongo gy'ente lukumi egikola emirimu, n'endogoyi enkazi lukumi.
13
Era yalina abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu.
14
Omuwala asooka n'amutuuma Yemima, owookubiri erinnya lye Keziya, n'owookusatu erinnya lye Kereni Happuki.
15
Mu nsi yonna tewaali bakazi balungi babalagavu nga bawala ba Yobu. Kitaabwe n'abawa omugabo gw'obusika, awamu ne bannyinaabwe.
16
Ebyo bwe byaggwa, Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana, n'alaba abaana be n'abazzukulu, okutuuka ku bannakasatwe.
17
N'oluvannyuma Yobu n'afa nga musajja mukadde, ow'emyaka emingi ddala.
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42