bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 36
Job 36
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 37 →
1
Awo Elihu n'ayongera n'agamba nti:
2
“Ogira oŋŋumiikiriza mmale okukunnyonnyola, kubanga nkyalinayo kye njagala okwogera ku lwa Katonda.
3
Nja kuleeta bye mmanyi okuva wano ne wali, okukakasa nti Omutonzi wange mwenkanya.
4
Mazima sirimba mu bye njogera. Alina okumanya okujjuvu ye ali naawe.
5
Katonda wa maanyi, era si munyoomi. Tewali ky'atategeera.
6
Taleka babi kuyinaayina, naye abanyigirizibwa abawa ebibagwanidde.
7
Abataliiko kye bavunaanibwa tabaggyaako liiso; naye ku ntebe awali bakabaka kw'abateeka ne bagulumizibwa ennaku zonna.
8
Era bwe basibwa mu masamba Ne babonyaabonyezebwa,
9
Katonda abalaga kye baakola, era nga bwe baasobya nga beekulumbaza.
10
Azibula amatu gaabwe, bawulire by'abalabulamu, n'abalagira okuva mu bibi byabwe.
11
Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalangako obulamu bwabwe nga balina emikisa, era nga basanyuka.
12
Naye bwe batawulira, balizikirizibwa olumbe. Balifa olw'obutamanya bwabwe.
13
Abo abatassaamu Katonda kitiibwa basiba obusungu ku mutima. Ne bw'ababonereza tebamusaba kubayamba.
14
Bafa bakyali bavubuka. N'enkomerero y'obulamu ebasanga bali mu buswavu.
15
Naye Katonda ayigiriza abantu ng'ayita mu kubonaabona kwabwe. Mu buyinike bwabwe mw'aggulira amatu gaabwe.
16
“Katonda yakuggya mu buzibu n'akuwonya okutawaanyizibwa. Olujjuliro lwo ne lujjula ebyokulya ebiwoomu.
17
Naye kaakano osaliddwa omusango mu bujjuvu, nga babi banno abalala. Omusango gusaliddwa, tokyalina gy'ojulira.
18
Weegendereze oleme okulimbibwa obugagga. Era enguzi ereme kukwonoona.
19
Obugagga bwo tebuuyambe, wadde n'amaanyi go gonna, okukuwonya okubonaabona.
20
Teweegomba kiro kujja amawanga mwe gazikirizibwa amangwago.
21
Weegendereze oleme kukola bibi. Okubonaabona kwo kwajja kukutangira mu ekyo.
22
“Laba Katonda bw'alina obuyinza obungi! Ani amwenkana mu kuba omuyigiriza?
23
Ani amubuulira eky'okukola? Oba ani ayinza okumugamba nti: ‘Ky'okoze si kituufu?’
24
Jjukira okumutenderezanga olw'ebyo bye yakola. Abantu bye batenda mu nnyimba.
25
Abantu bonna babiraba. Naye nga babirengerera wala.
26
Laba Katonda bw'ali omukulu, era tetumumanya kimala! Emyaka gye tegibalika.
27
Atwala waggulu amatondo g'amazzi ne gakenenukamu enkuba okuva mu lufu lwe,
28
ebire gye biyiwa n'etonnyera abantu mu bungi.
29
Era waliwo ategeera ebire bwe bibikkibwa ku ggulu, wadde ategeera okubwatuka kw'eggulu lye?
30
Asaasaanya okumyansa kw'eggulu okumwetooloola. Naye obuziba bw'ennyanja n'abubikkako enzikiza.
31
Atonnyesa enkuba n'aliisa abantu, n'abawa emmere nnyingi.
32
Akwata okumyansa kw'eggulu mu kibatu kye N'alagira kukube gy'akwolekeza.
33
Okubwatuka kw'eggulu kulaga nti kibuyaga asembedde. N'ente zimanya nti ajja.
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42