bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 8
Job 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 9 →
1
Awo Biludaadi Omusuuhi n'addamu ng'agamba nti:
2
“Onootuusa wa okwogera ebigambo ebyo ebiri ng'empewo ey'amaanyi?
3
Katonda asaliriza ensonga? Omuyinzawaabyonna awa ensala eteri ntuufu?
4
Abaana bo baakola ekibi ne bamunyiiza, kyeyava ababonereza olw'ekibi kyabwe.
5
Bw'okkiriza okugondera Katonda, ne weegayirira Omuyinzawaabyonna,
6
era bw'onooba omulongoofu era omwesimbu, taaleme kusituka n'akuyamba, n'akuddizaawo amaka go agakusaanidde.
7
Wadde byali bitono bye walina mu kusooka, naye eby'oluvannyuma biryeyongera nnyo obungi.
8
“Nkusaba weebuuze ku b'emirembe egy'edda; weetegereze n'ebyo bajjajjaabwe bye baazuula.
9
Kubanga ffe tuli ba jjo tetuliiko kye tumanyi. N'ennaku ze tumala ku nsi, ziyita nga kisiikirize.
10
Kale ab'edda abo tebakuyigiriza ne bakutegeeza, ne bakuggyirayo bye bamanyi?
11
Ekitoogo kiyinza okukula awatali lutobazzi? N'olumuli luyinza okumera awatali mazzi?
12
Amazzi bwe gakalira ne bwe biba tebitemeddwa, bye bisooka ebimera ebirala byonna okuwotoka.
13
N'abeerabira Katonda bwe batyo bwe baba. N'oyo atatya Katonda taba na ssuubi.
14
Kye yeesiga kikutuka nga wuzi; n'ekimuyinula kiba nga ntimbe za nnabbubi.
15
Yeesigama ku nnyumba ye n'etemuwanirira. Aginywererako kyokka n'eteguma.
16
Ali ng'ekimera ekifukirirwa ku makya ng'omusana tegunnayaka. Amatabi ge ne galanda okubuna mu nnimiro.
17
Emirandira gye gisensera mu ntuumu z'amayinja, ne gyekwata ku buli jjinja.
18
Bw'akuulibwa mu kifo ekyo kimwegaana nti: ‘Sikulabangako.’
19
N'essanyu ly'omubi bwe liba. Kubanga wajjawo abalala ne badda mu kifo mw'abadde.
20
“Kale nno Katonda talyabulira muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era taliyamba bakola bibi.
21
“Ddaaki alikujjuza obuseko, era okube obukule.
22
Abakukyawa baliswala, n'ennyumba z'ababi zirisaanyizibwawo.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42