bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 13
Job 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 14 →
1
“Kale ebyo byonna nabiraba, era nabiwulira dda ne mbitegeera.
2
Bye mumanyi mmwe, era nange mbimanyi temunsinga.
3
Naye njagala njogere na Muyinzawaabyonna. Katonda gwe njagala okulaga nti siriko kye nvunaanibwa.
4
Kyokka mmwe mwogera bya bulimba okukweka amazima. Muli basawo abatasobola kuwonya.
5
Singa musirikidde ddala lwe mwandiraze bwe muli abagezi.
6
“Muwulirize kye ŋŋamba. Mutege amatu muwulire empoza yange.
7
Munaawolereza Katonda nga mwogera ebitali bituufu, era nga muleeta eby'obulimba?
8
Munaasaliriza ku lulwe, muwoze omusango gwe asinge?
9
Binaabagendera bulungi bw'anaabakebera okubekkaanya? Munaamulimbalimba ng'abantu bwe balimbalimba bannaabwe?
10
Taaleme kubavunaana ne bwe munaakweka okusaliriza kwammwe.
11
Ekitiibwa kye tekiibatiise, ne kibakwasa ensisi?
12
Engero zammwe tezigasa: ziri nga vvu. N'empoza yammwe temuli: emulungulwa nga bbumba.
13
“Musirike, muleke nze njogere. Ebinanzijira, binzijire.
14
Ka nneeveemu mpeeyo n'obulamu!
15
Oba anzita anzite, kiki kye nkyasuubirayo? Kyokka nja kuwoleza mu maaso ge.
16
Era ekyo kye kinandokola. Kubanga atassaamu Katonda kitiibwa tayimirira mu maaso ge.
17
“Muwulirize ebigambo byange, mutegereze bye ŋŋamba.
18
Kale nsengese empoza yange, mmanyi nja kwejjeerera.
19
Ani anannumiriza omusango? Neetegese bwe guba gunsinze, okusirika era nfe.
20
Ompeeyo ebintu bibiri byokka olwo nneme kukwekweka.
21
Okumbonereza lekera awo era oleme okunkanga n'okuntiisa.
22
Kale ggwe sooka ompite, nze mpitabe. Oba oleke nze njogere, ggwe onziremu.
23
Ensobi zange n'okuwaba kwange bye biruwa? Ntegeeza obujeemu bwange n'ekibi kyange.
24
“Lwaki onneekweka n'ompita omulabe wo?
25
Onootiisa nze akakoola akatwalibwa embuyaga? Oyigganye nze akasasiro akakaze?
26
Onnumiriza emisango eminene n'ogiwandiika. Onvunaana ensobi ez'omu buvubuka bwange.
27
Osiba ebigere byange mu nvuba. Olondoola buli kigere kye nsitula, olamba buli we nninnya.
28
Naye nseebengerera ng'ekintu ekivunda ne kiggwaawo, oba ng'ekyambalo ekiriibwa ennyenje.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42