bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 3
Job 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 4 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Yobu n'atandika okwogera, n'akolimira olunaku lwe yazaalirwako.
2
Yobu n'agamba nti:
3
“Olunaku kwe nazaalirwako luzikirire, n'ekiro ekyagamba nti omwana ow'obulenzi ali mu lubuto.
4
Lube lwa kizikiza olunaku olwo; Katonda mu ggulu alwerabire, n'enjuba ereme okwakirako.
5
Ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte biruyite olwabyo. Ekire kirubikke. Lutiisibwe ebyo byonna ebiddugaza obudde.
6
Ekiro ekyo kivumbagirwe ekizikiza ekikutte. Kiggyibwe mu nnaku z'omwaka; kireme na kubalirwa mu mwezi.
7
Ddala ekiro ekyo kibe kya bugumba; kireme kuwulirwamu basanyuka.
8
Kikolimirwe abo, abakolimira obudde; era abasobola okusaggula goonya.
9
Emmunyeenye z'amakya gaakyo zireme okulabikako. Ekitangaala kye kisuubira, kibule, kireme kulaba ku mmambya.
10
Kubanga mmange tekyamufuula mugumba, ne kireka ndabe ennaku eno endaaza!
11
Lwaki saafiirawo nga nzaalwa, olwava mu nda ya mmange ne nzisa ogusembayo?
12
Lwaki nalererwa ku maviivi? N'amabeere lwaki gannyonsa?
13
Kubanga bwe nandifudde nandisirise; nandyebase, nandiwummudde
14
wamu ne bassekabaka n'abafuzi b'ensi, abeezimbira obuggya embiri mu matongo.
15
Nandyebase wamu n'abalangira abajjuza ennyumba zaabwe zaabu ne ffeeza.
16
Singa naggyibwawo ng'omusowole, oba okuziikibwa ng'omwana azaalibwa ng'afudde, atalaba ku kitangaala.
17
Eyo mu ntaana ababi, bakoma okuteganya abantu, era eyo, abalungi gye bawummulira.
18
Eyo n'abasibe bassa ku mukka; ne batawulira abatulugunya.
19
Omuto n'omukulu bali eyo; n'omuddu tafugibwa mukama we.
20
“Abantu abali mu nnaku balabira ki ekitangaala? N'abo ababonaabona babeerera ki abalamu?
21
Beegomba okufa, ne kubeesamba; ne bakunoonya okukira abawuukuula obugagga obukwekeddwa.
22
Basanyuka nnyo nnyini ne bajaguza bwe bafa, ne bateekebwa mu ntaana.
23
Omuntu akwekeddwa ekkubo lye Katonda gw'akolako olukomera?
24
Kubanga okusinda ye mmere yange; okusindogoma okwange tekukoma.
25
Kye ntya kye kinzijira, n'ekinkanga kye kingwira.
26
Siweerako, sirina mirembe, siwummula, Mitawaana gye gijja!”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
Recommended Reading
Commentary
Job Commentaries
→
Devotional
Job Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→