bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 38
Job 38
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 39 →
1
Awo Mukama n'addamu Yobu ng'asinziira mu mbuyaga ey'amaanyi, n'agamba nti:
2
“Ani oyo aziyiza entegeka yange okutegeerekeka, ng'ayogera ebiraga obutamanya?
3
Kale weesibe ekimyu ng'omusajja, onziremu bye nkubuuza.
4
“Wali oli ludda wa bwe nassaawo emisingi gy'ensi? Mbuulira, oba okitegeera.
5
Ani yasalawo bw'enenkana obunene? Oba ani yagipimisa omuguwa? Tolema ggwe kumanya.
6
Emisingi gyayo giri ku ki? Oba ani yasimba ejjinja lyayo ery'omu nsonda,
7
emmunyeenye z'oku makya bwe zaayimbira awamu ne bannaggulu, ne baleekaana olw'essanyu?
8
Oba ani yaggalira ennyanja enzigi, bwe yawaguza ng'ekiva mu nda ya nnyina waakyo?
9
Nze nafuula ebire ekyambalo kyayo, n'ekizikiza ekikutte ne nkifuula obugoye obugibikka.
10
Nagiteerawo ekkomo lyayo, Ne nteekawo enzigi n'ebisiba.
11
Ne ngigamba nti: ‘Okomanga wano, era tosukkangawo. N'amayengo go agasuukiira we ganaaziyirizibwanga.’
12
“Bukya obaawo, wali olagidde emmambya ejje era olunaku lukye,
13
ekitangaala kibune buli kanyomero ka nsi, kigobewo ababi beekweke?
14
Olwo ensi evaayo n'erabika ng'eri ng'ekyambalo, ekya langi ennyingi.
15
Ababi ekitangaala kibamalako eddembe, ne baziyizibwa okukola eby'obukambwe.
16
Wali otuuse ebuziba, awali ensulo z'ennyanja? Wali otambulidde wansi eyo ku ntobo y'ennyanja?
17
Waliwo eyali akulaze enzigi z'emagombe, eziyingira mu kizikiza awakuumirwa abaafa?
18
Wali otegedde ensi bw'eri obugazi? Nziramu oba byonna obimanyi.
19
Omanyi ekkubo erituusa awasula ekitangaala? Ekizikiza bwe kivaawo kiraga wa?
20
Oyinza okubiggyayo mu kifo kyabyo? Era otegeera amakubo agatuusa gye bisula?
21
Omanyi, kubanga wali muzaale mu bbanga eryo! Nga mingi emyaka gy'owangadde!
22
Wali oyimiridde mu mawanika ng'omuzira? Wali olabye awaterekebwa amayinja ag'omuzira,
23
ge nterekera ekiseera ekizibu, olunaku lw'obulwa n'otulo?
24
Kkubo ki erituusa mu kifo omwawukanira ekitangaala? Oba embuyaga z'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi?
25
Ani yatema ku ggulu emikutu enkuba mw'eyita eyiike? Oba ekkubo ly'okubwatuka kw'eraddu?
26
Ani atonnyesa enkuba mu bitundu ebitabeeramu bantu? N'etonnya mu ddungu omutaba muntu n'omu,
27
okufukirira ensi eyazika enkalu erekeddwa awo, emeremu omuddo omuto?
28
Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani azaala amatondo g'omusulo?
29
Omuzira guva mu nda ye ani? N'omusulo ogutonnyerera ng'olukubakuba ne gukwata, ani aguzaala?
30
Amazzi gafuuka amakalubo ng'ejjinja, ne kungulu w'ennyanja ne wakwata.
31
Oyinza okusiba ekikuukuulu ky'emmunyeenye ekiyitibwa Kakaaga? Oba okusumulula emiguwa egigatta ezo eziyitibwa Omuyizzi?
32
Oyinza okufulumya emmunyeenye zirabikire mu budde bwazo? Oba oyinza okuluŋŋamya Ddubu ennene n'abaana baayo?
33
Omanyi ebiragiro ebifuga mu ggulu? Oyinza okubikozesa okufuga ne mu nsi?
34
Oyinza okuboggolera ebire okubiragira bikubunduggulireko amazzi?
35
Oyinza okuweereza ebimyanso by'eggulu bigende, ne bikugamba nti: ‘Tuutuno?’
36
Ani yateeka mu bire amagezi, ag'okutonnyesa enkuba? N'eyawa olufu okutegeera engeri gye lunaagwangamu?
37
Ani ayinza okukozesa amagezi n'abala ebire? Oba ani ayinza okuttulula amaliba g'omu ggulu ago,
38
enfuufu n'efuuka ettosi, ebitoomi ne byekwata?
39
“Onooyiggira empologoma enkazi by'erya? Oba onoogabirira empologoma ento ozikkuse,
40
bwe zeebaka mu mpuku zaayo, oba bwe zibwama mu bisaka okuteega?
41
Ani aliisa binnamuŋŋoona bwe bitambulatambula okunoonya emmere, ng'abaana baabyo bankaabirira?
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 39 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42