bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 33
Job 33
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 34 →
1
“Kati nno Yobu, wulira bye ŋŋenda okwogera. Wuliriza ebigambo byange byonna.
2
Kale ka ntandike okwogera, nfulumye muli ekimpujja.
3
Ebigambo byange bye biraga nti ddala ndi mwesimbu.
4
Mwoyo wa Katonda yantonda. Omukka gw'Omuyinzawaabyonna gwampa obulamu.
5
Oba oyinza, nziraamu. Tereeza bulungi ensonga, oyimirire mu maaso gange.
6
Nze naawe mu maaso ga Katonda tuli kimu: Ffembi twabumbibwa mu ttaka.
7
N'olwekyo tobaako ky'ontyamu. Sijja kukuzitoowerera.
8
Mazima oyogedde mpulira. Eddoboozi lyo livuze mu gano amatu gange nti:
9
‘Sirina musango, tewali kikyamu kye nakola. Siriiko kye nvunaanibwa, era sirina kibi.
10
Naye Katonda afuna ebyekwaso, n'anteeka mu ssa ly'omulabe.
11
Asiba ebigere byange mu nvuba, alingiriza bye nkola byonna.’
12
Naye ka nkubuulire ggwe Yobu, nti mu kino oli mukyamu. Katonda asukkulumye nnyo ku bantu.
13
Lwaki omwemulugunyiza ng'ogamba nti: ‘Bye mmugamba nga tanziramu?’
14
Kubanga Katonda ayogera mu ngeri eno oba eri, wadde ng'abantu tebeeteerayo mwoyo.
15
Abantu ekiro mu tulo otungi balina bye balabira mu birooto nga babongootera ku bitanda.
16
Awo Katonda w'aggulira amatu g'abantu. N'abakakasa by'abayigiriza,
17
alyoke abaggye ku bikolwa ebibi, era abaziyize okuba abeepansi.
18
Abawonya okukka emagombe, n'okuzikirizibwa olumbe.
19
Era okulwalira ku kitanda, n'okulumwa mu magumba, bikangavvula omuntu.
20
Obulamu bwe butamwa by'alya. N'ebyamuwoomeranga, n'atabyegomba.
21
Aggweebwako omubiri n'akogga. Amagumba ge agataalabikanga ne gakukunala.
22
Ddala asemberera omugo gw'entaana, n'abula kata okuzikirira.
23
“Naye bw'afuna omu ku bamalayika ba Katonda enkumi n'enkumi abayamba abantu okubalaga ekituufu,
24
n'amukwatirwa ekisa, n'agamba Katonda nti: ‘Muwonye aleme kukka magombe. Mmulabiddeyo omutango.
25
Omubiri gwe gube kawerette ng'ogw'omwana omuto. Era yennyini adde buvubuka,’
26
olwo omuntu oyo asinza Katonda, Katonda n'amukwatirwa ekisa, n'ajja mu maaso ge nga musanyufu, kubanga amuwonyezza okufa.
27
Ayimbira mu maaso g'abantu ng'agamba nti: ‘Nayonoona, ne nkola ebitatuuse. Naye ne sibonerezebwa nga bwe nsaanidde.
28
Annunudde ne sikka magombe nja kwongera okuba omulamu.’
29
Mazima ebyo byonna Katonda abikolera abantu bulijjo
30
okubawonya amagombe, n'abawa essanyu olw'okuba abalamu.
31
“Kaakano nno Yobu, wuliriza bye ŋŋamba. Sirika ondeke njogere.
32
Naye oba olinayo ky'ogamba, kyogere mpulire. Yogera, kubanga njagala okukakasa nti tolina musango.
33
Naye oba tokirina, sirika owulire bye ŋŋamba. Nkuyigirize eby'amagezi.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42