bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 16
Job 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 17 →
1
Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti:
2
“Mpulidde bingi ebiri ng'ebyo. Kale olwo munkubagizizzaamu ki?
3
Emboozi eyo etegasa munaagikomya wa? Ye kiki ekikusosonkereza okunnyanukula bw'otyo?
4
Nange nandisobodde okwogera nga mmwe bwe mwogedde, singa mmwe muli mu mbeera eyange gye ndimu bwe nti. Nandiboogeredde amafuukuule nga bwe nnyeenya n'omutwe mu bunyoomi.
5
Nandyogedde ebinaabagumya nzikakkanye ku buyinike bwammwe.
6
“Naye okwogera ne bwe njogera obulumi bwange tebukendeera. Era ne bwe nsiriikirira mpeeraweerako kenkana wa?
7
Ddala, ayi Katonda, ommaze amaanyi, N'abange bonna obasaanyizzaawo!
8
Ggwe okunvumbagira kye kinnumiriza. N'obukovvu bwange, abantu kwe basinziira okukakasa nti gunsinze.
9
Katonda, mu busungu bwe, antaagudde era ankyaye. Annumidde obujiji. Yeefudde omulabe wange, n'ankanulira amaaso!
10
Abantu bantunuulidde nga basamaaliridde. Bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.
11
Katonda ampaddeyo eri ababi. Ansudde mu mikono gy'aboonoonyi.
12
Nali nteredde wamu, n'ajja n'angabanyaamu. Yankwata ku nsingo, n'ankuba ekigwo wansi. Antaddewo ng'ekintu ky'akubirako sabbaawa.
13
Abalasa obusaale bwe, banneetoolodde. Ayasaamu ensigo zange nga tasaasira n'akatono, n'ayiwa endulwe yange ku ttaka.
14
Anfubutukira ng'omulwanyi mu lutalo n'ammenyaamenya buli nnyingo.
15
Neetungidde ekikutiya ky'abakungubazi ne nkyeteeka ku mubiri. Nzigweddemu amaanyi ne ngalamira mu nfuufu.
16
Okukaaba ennyo amaziga kunfumizza entunula. Amaaso gazimbye ebisige ne gajjako ekifu.
17
Sso nga sikolanga bukambwe, era nsinza bulungi Katonda.
18
“Ayi ggwe ensi togaana musaayi gwange kululuma; n'omulanga gwange guleme kusirisibwa.
19
Ne mu kaseera kano mu ggulu eriyo anjulira, waggulu ampolereza tabuzeeyo.
20
Mikwano gyange bannyooma. Naye eri Katonda gye nzirukira nga njiwa amaziga.
21
Wabeewo ali wakati wa Katonda nange omuntu, okufaanana ng'oyo abeera wakati w'omuntu ne munne.
22
Kubanga emyaka mitono gye nsigazizza giggweeko, ntambule okugenda eyo gye siriva kukomawo.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42