bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 32
Job 32
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 33 →
1
Awo abasajja abasatu ne balekera awo okuddamu Yobu, kubanga yalaga nti yeemanyi nga taliiko ky'avunaanibwa.
2
Awo Elihu, mutabani wa Barakeeli Omubuuzi, ow'omu lulyo lwa Raamu, n'abuubuuka obusungu, kubanga Yobu yeeyita atalina musango, n'anenya Katonda.
3
Era Elihu n'asunguwalira ne mikwano gya Yobu abasatu, kubanga baabulwa kye baanukula Yobu, newaakubadde baali bamaze okusalira Yobu omusango okumusinga.
4
Elihu yali akyalinze okubaako ky'agamba Yobu, kubanga waaliwo abaali basinga Elihu obukulu.
5
Bwe yalaba ng'abasajja abo abasatu babuliddwa eky'okuddamu Yobu, obusungu bwe ne bubuubuuka.
6
Awo Elihu ono, mutabani wa Barakeeli Omubuuzi, n'addamu ng'agamba nti: “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakadde. Kyenvudde ntya ne saŋŋanga kubalaga kye mmanyi.
7
Ne ŋŋamba nti: ‘Ab'emyaka ka boogere, Abakadde balage amagezi.’
8
Naye Mwoyo wa Katonda mu bantu, omukka ogubateekebwamu Omuyinzawaabyonna, gwe gubawa okutegeera.
9
Okukula si kwe kugeziwala, N'okukaddiwa si kwe kutegeera ekituufu.
10
Kyenva ŋŋamba nti: Muntegere amatu, nange ndage kye mmanyi.
11
Kale mubadde mukyanoonya bye munaayogera, ne nnindirira ebigambo byammwe mpulirize eby'amagezi ebibavaamu.
12
Mbateereddeyo omwoyo okuwuliriza, ku mmwe ne wataba n'omu avuganya Yobu mu bigambo, wadde ayanukula by'aleese.
13
Mwekkaanye muleme kwewaana nti amagezi mugazudde. Katonda ye ayinza okumuwangula, sso si bantu.
14
Ebigambo bye tabyolekezza nze. Naye nze sandimuzzeemu na bigambo ng'ebyo ebyammwe.
15
“Basobeddwa, babuliddwa eby'okuddamu. Tebakyalina kye bagamba.
16
Era nga bwe basirise nninde? Bayimiridde awo, tebakyalina kye baanukula?
17
Nze nja kubaako kye nziramu. Nange kye mmanyi nja kukiraga.
18
Eby'okwogera nnina bingi. Mpulira muli ekimpika njogere.
19
Nziyidde siriiko we nzisiza. Ndi ng'omwenge omusu omusaanikire, Ogwagala okwabya mwe guteekeddwa.
20
Nnina kwogera ndyoke mpeere. Nteekwa okubaako kye ŋŋamba.
21
Sijja kwekubiira ku ludda lw'ono oba olw'oli. Sijja era kubaako gwe mpaana.
22
Kubanga simanyi kuwaana. Era sikulwa ng'Omutonzi wange anzigyawo amangu.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
Recommended Reading
Commentary
Job Commentaries
→
Devotional
Job Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→