bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 34
Job 34
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 35 →
1
Awo Elihu n'agamba nti:
2
“Muwulirize bye ŋŋamba mmwe abantu abagezi. Muntegere amatu mmwe abamanyi ebintu.
3
Kubanga omuntu mu by'awulira ayawulamu ebituufu n'ebitali bya mazima, nga bw'alya ku mmere n'ayawula ewooma n'etewooma.
4
Twawulemu ekituufu. Twesalirewo ffekka kye tulaba nti kirungi.
5
Kubanga Yobu agambye nti: ‘Siriiko kye nvunaanibwa. Kyokka Katonda tampisizza bulungi.
6
Newaakubadde ndi mutuufu, mpitibwa mulimba. Wadde sizzanga musango, nfumitibwa nfe bufi.’
7
Yobu muntu wa ngeri ki? Obunyoomi abwekatankira nga bw'anywa amazzi.
8
Ayita wamu n'abakozi b'ebyambyone. Atambulira wamu n'aboonoonyi.
9
Kubanga agambye nti: ‘Okuba mukwano gwa Katonda omuntu talina ky'afunamu.’
10
Kale muntegere amatu mmwe abantu abategeevu. Tekiyinzika n'akatono Katonda kukola bitasaana. Era Omuyinzawaabyonna okukola ate ebisobyo.
11
Kubanga aliwa buli muntu empeera, ng'asinziira ku ebyo buli omu bye yakola. Omuntu n'alaba nti ky'afunayo kye kiikyo ekigwanira empisa ze.
12
Kituufu ddala nti Katonda wamma taakolenga kibi, era Omuyinzawaabyonna taasalirizenga nsonga.
13
Ani yamuwa omulimu gw'okulabiriranga ensi? Oba ani yateekateeka buli kintu?
14
Katonda singa asalawo okweddiza omwoyo gwe, n'omukka gwe, ebiwa obulamu,
15
buli kiramu kyandizikiridde, abantu ne badda mu nfuufu.
16
“Kale oba ggwe otegeera ebintu wuliriza kye ŋŋamba.
17
Akyawa obwenkanya ayinza okufuga? Oyo omutuufu ow'amaanyi gw'osalira omusango okumusinga?
18
Si ye oyo agamba kabaka nti: ‘Oli ntagasa’, N'abakungu nti: ‘Muli babi?’
19
Ye oyo ateekubiira ku ludda lw'abafuzi, ayisa obumu abagagga n'abaavu. Kubanga batonde be bonna.
20
Bafa mu kaseera buseera, mu matumbi g'obudde. Abantu banyeenyezebwa ne babulawo. Ab'amaanyi baggyibwawo nga tewali abakuttenako.
21
Atunuulira engeri omuntu gye yeeyisaamu, era alaba buli gy'alaga yonna.
22
Tewali kisiikirize wadde kizikiza ekikutte, abakola ebibi mwe bayinza okwekweka Katonda.
23
Katonda teyeetaaga kumala kulaalika muntu atuuke mu maaso ge okumusalira omusango.
24
Teyeetaaga kubuuliriza okumenyawo ab'amaanyi, n'okussaawo abalala mu kifo kyabwe.
25
Nga bye bakola bw'abimanyi, abavuunika kiro n'abazikiriza.
26
Abakubira mu maaso g'abantu, ng'abalanga ebibi byabwe.
27
Kubanga balekayo okumugoberera, ne batafaayo ku biragiro bye.
28
Ne baleka abaavu okumukaabirira. N'awulira okukaaba kwabwe, nga bababonyaabonya.
29
Bw'asalawo obutabaako ky'asalawo, ani ayinza okumusalira omusango okumusinga? Bw'akweka amaaso ge, ani ayinza okumulaba, ne bwe liba ggwanga oba omuntu?
30
Omuntu atatya Katonda amuziyiza okufuga, waleme kubaawo asuula bantu mu katego.
31
“Kirungi omuntu agambe Katonda nti: ‘Mbonerezeddwa, sikyaddamu kusobya.
32
Njigiriza kye siraba. Oba nga nakola ekibi sikyaddamu kukikola.’
33
Oba owakana, olowooza nti Katonda yandibonerezza omuntu ng'oyo? Awo ggwe olina okusalawo, sso si nze. Kale yogera ky'omanyi.
34
Abantu abategeevu bajja kuŋŋamba, ne buli muntu ow'amagezi anaawuliriza bye njogera ajja kuŋŋamba nti:
35
‘Yobu ayogeza butamanya, ne by'ayogera temuli magezi.’
36
Yobu awozesebwe mu bujjuvu, kubanga addamu ng'abantu ababi;
37
kubanga ku bibi bye, ayongerako obujeemu. Anyooma Katonda ng'asinziira wakati mu ffe, n'ayogera olutakutuka.”
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42