bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 7
Job 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 8 →
1
“Obulamu bw'omuntu buba bwa kukuluusana ku nsi. Buba ng'obw'abakolera empeera.
2
Ng'omuddu bwe yeegomba okuwummula mu kisiikirize, era ng'omupakasi bw'asuubira empeera ye,
3
nange bwe ntyo bwe nagabana emyezi gye sifunamu mugaso, n'obudde bw'ekiro bwanteerwawo, bumbuzeeko obuwummuliro.
4
Bwe ngalamira ne nneebuuza nti: ‘Okugolokoka kwa ddi?’ Naye ekiro tekiggwaako! Nsula nkulungutana okukeesa obudde.
5
Omubiri gwange gujjudde envunyu n'obujama. Olususu lwange luyulika ne lufulumya amasira.
6
Ennaku zange ziri ku misinde okusinga n'ewuzi ey'oyo atungisa ekyalaani. Ziggwaako nga tewali ssuubi.
7
Jjukira nti obulamu bwange mukka. Amaaso gange tegaliddayo kulaba birungi
8
Eriiso erintunulako teririddayo kundabako. Amaaso bwe galinnoonya ndiba nabuzeewo dda.
9
“Ng'ekire bwe kiggwaawo ne kibula, bw'atyo n'akka emagombe eyo tagenda kwambuka aveeyo.
10
Takomawo nate mu maka ge. N'abo be yabeeranga nabo bamwerabira.
11
Kale kaakano siisirike, ka nsinde obuyinike bwange, njogere ennaku endi ku mwoyo.
12
Ndi nnyanja, oba kikulejje ky'omu nnyanja, olyoke onteekeko abankuuma?
13
Bwe njagala ekitanda kimpeezeeko, n'obuliri bwerabize ku kwemulugunya kwange,
14
n'ontiisiza mu birooto ng'ondagiramu ebinkanga!
15
Ne nsiima okutugibwa nveewo okusinga lwe mba amagumba gano.
16
Neetamiddwa obulamu siribeerawo nnaku zonna. Ndeka, kubanga obulamu bwange bwa kaseera buseera.
17
Omuntu ataliiko bw'ali lwaki omussaako omwoyo,
18
n'omwekebejja buli nkya, n'omugeza buli kaseera?
19
Olituusa wa obutanzigyako maaso, n'obutandeka kumala kumira ku ddusu lyange?
20
Bwe mba nkoze ekibi nkukolako kabi ki ggwe alabirira abantu? Onnondoolera ki ne ntuuka n'okwezitoowerera?
21
Kale lwaki tonsonyiwa buli kye nsobya kyonna, n'oggyawo ekibi kyange? Kubanga kaakano nja kufa ngalamire mu nfuufu. Era bw'ononnoonya nja kuba sikyaliwo.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
Recommended Reading
Commentary
Job Commentaries
→
Devotional
Job Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→