bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 14
Job 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 15 →
1
“Buli muntu azaalibwa mukazi. Obulamu bwe buba bumpi, Era buba bwa bugubi.
2
Akula n'awotoka ng'ekimuli. Abulawo nga kisiikirize, tasigalawo n'akatono.
3
Kale ggwe otunuulira omuntu ali bw'atyo? N'oleeta nga nze mu maaso go onsalire omusango?
4
Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu? Tewali n'omu.
5
Wasalirawo dda omuntu ennaku z'aliwangaala. Wamugerekera n'emyezi, n'opimira ddala ebbanga ly'atayinza kusussaawo.
6
Kale muggyeeko amaaso omuleke awummuleko, alyoke amaleko olunaku lwe ng'omupakasi akolera empeera.
7
“Bwe batema omuti, wabaawo essuubi nti ku kikonge kyagwo kunaaloka ettabi, era teriife.
8
Wadde emirandira gyagwo gikaddiyira mu ttaka ekikonge kyagwo ne kivunda,
9
bwe gutuukibwako amazzi, gulisibuka ne guleeta amatabi ng'ekisimbe ekiggya.
10
Naye omuntu afa, n'aggweeramu ddala obulamu. Bw'assa ogw'enkomerero, aba akyali ludda wa?
11
Ng'ennyanja bw'eggwaamu amazzi era ng'omugga bwe gukalira,
12
bw'atyo n'omuntu afa, n'agalamira obutayimuka. Ng'eggulu likyali mu bbanga talizuukuka n'akatono. Talizuukusibwa mu tulo twe.
13
“Singa onkwese emagombe n'onkuumira eyo, okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo. Era n'ongerera ekiseera n'onzijukira.
14
Omuntu bw'afa, addamu obulamu? Naye nze ekiseera kyonna nandirinze okutuusa lwe nanditeereddwa.
15
Olwo wandimpise nze ne mpitaba. N'osanyukira nze ekitonde kyo.
16
N'olabirira buli kigere kye nsitula. Naye n'oteekaliriza bibi byange.
17
Olibinsonyiwa n'obisibira mu nsawo. Olibikkako ebisobyo byange.
18
Naye era n'ensozi zigwa ne ziseebengerera, n'olwazi luggyibwa mu kifo kyalwo.
19
Amazzi gaggweereza amayinja, ne mukoka akuluggusa ettaka. Naawe bw'otyo bw'ozikiriza essuubi omuntu ly'aba nalyo.
20
Ojja n'omusinza amaanyi n'omuggyirawo ddala. N'ofaafaaganya entunula ye mu kufa.
21
Batabani be batuuka ku kitiibwa ye nga takimanyi. Era bwe batoowazibwa ye tategeera bwe bali.
22
Awulira bulumi buli mu ye, era yeekungubagira yekka.”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42