bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 18
Job 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 19 →
1
Awo Biludaadi Omusuuhi n'addamu ng'agamba nti:
2
“Munaatuusa wa okunoonya eby'okwogera? Musooke mwerowooze tulyoke twogere.
3
Otubalira ki mu bisolo? Lwaki otufuula abasiru?
4
Ggwe eyeetaagula mu busungu, ensi eneeyabulirwa ku lulwo?
5
“Obulamu bw'omubi kya mazima buzikira ng'ettaala, oba ng'omumuli ogutaddayo kwaka.
6
Aliba ng'ennyumba erimu ekizikiza, ettaala emulisaamu bw'ezikira.
7
Eyali atambula nga yeekakasa kati yeekengera w'alinnya. Amagezi g'awa abalala yennyini gamusudde.
8
Ebigere bye bimutunze: yeesudde yekka mu mutego.
9
Omutego gumukutte ekisinziiro, akakunizo kamunywezezza.
10
Bamuteze omuguwa mu ttaka, bamukwese ekigu mu kkubo lye.
11
Entiisa emufuluma buli ludda, emugoba buggereggere okumukwata.
12
Alumwa enjala emumalamu amaanyi n'akabi kamuli ku lusegere.
13
Ekirwadde kimulidde omubiri, ekimbe kimuwemmense.
14
Asikambulwa mu nnyumba ye mw'abadde ateredde entende, ne bamutambuza okumutwala eri Kabaka w'entiisa.
15
Beesulira mu nnyumba kaakano etekyali yiye, nga bamaze okumansa obuganga mw'abadde.
16
Aliba ng'omuti ogukala okuviira ddala ku mirandira wansi okutuuka waggulu ku busanso.
17
Alyerabirirwa ddala ku nsi ne wabulawo amujjukira.
18
Aliggyibwa mu kitangaala n'agoberwa mu kizikiza, ave mu nsi y'abalamu.
19
Ku babe tewalisigalawo mwana wadde omuzzukulu. Era gye yabeeranga teriwonawo muntu.
20
Ebuvanjuba n'ebugwanjuba abaliwulira ebimutuuseeko balyesisiwala ne batya.
21
Enkomerero y'ababi ye eyo, awatali kuwannaanya. Ekyo kye kirituukirira ku bateefiirayo ku Katonda.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42