bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 15
Job 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 16 →
1
Awo Elifaazi Omutamani n'addamu ng'agamba nti:
2
“Ow'amagezi taddamu na bigambo bitalina makulu. Tayogera bigambo biri nga mpewo buwewo.
3
Tawalaaza mpaka zitalina mugaso. Tayogera bigambo bitavaamu kalungi.
4
Ojja kuziyiza abantu okussaamu Katonda ekitiibwa, n'okugenda mu maaso ge okumusinza.
5
Ebibi byo ye nsibuko y'ebyo by'oyogera. Era okozesa lulimi lwa bukumpanya.
6
Akamwa ko ke kakusalira omusango okukusinga, sso si nze. Emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.
7
“Abantu bonna ogamba ggwe wabasooka okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ng'ensozi tezinnabaawo?
8
Wawulirizaako ggwe Katonda bye yateesa mu kyama? Ggwe wageziwala wekka omu?
9
Kiki ky'omanyi kye tutamanyi? Otegeera biki ebyatulema?
10
Ffe tuli wamu n'ab'envi n'abakadde ennyo, abakulu n'okusinga kitaawo.
11
Katonda by'anaakukolera okukugumya by'ogaya nti tebimala? N'ebigambo ebikkakkamu bye tukubuulira ku lulwe by'onyooma?
12
Lwaki ocamuukiridde? Lwaki otunuza bukambwe,
13
n'osunguwalira Katonda n'oyogera ebiri ng'ebyo?
14
Omuntu ayinza okuba omulongoofu? Ani eyazaalibwa omukazi Katonda gw'abala nti mutuufu?
15
Olaba Katonda teyeesiga wadde bamalayika be! N'eggulu si ddongoofu mu maaso ge.
16
Alabisa kale omuntu omwonoonefu era entagasa, eyeekatankira ebyonoono nga bw'anywa amazzi!
17
“Ntegera amatu njogere, nze nkubuulire bye ndabye;
18
n'abagezi bye boogedde nga babiggya ku bajjajjaabwe,
19
abaaweebwa ensi eno bokka nga tebali wamu na bagwira.
20
Omubi ateganyizibwa ennaku zonna. Oyo anyigiriza abalala, abonaabona obulamu bwe bwonna.
21
Awulira mu matu ge amaloboozi ag'entiisa. Lw'afunyeeko akalembereza lw'alirumbibwa abanyazi.
22
Tasuubira kuva mu kizikiza. Era okuttibwa kw'alindirira.
23
Abungeeta anoonye k'anaalya nga yeebuuza gy'anaakaggya. Amanyi nti olwa kazigizigi kati lumukeeredde.
24
Ennaku n'obuyinike bimutiisa nga kabaka ow'amaanyi bw'atiisa be yeeteeseteese okulumba.
25
Kubanga agalulidde Katonda ekikonde ky'amufunyidde, n'asoomoza Omuyinzawaabyonna.
26
Abulira mu ngabo ye ennene, agende amulumbagane.
27
Kubanga mugevvu mu maaso n'emabega agezze akabina.
28
Era abeera mu bibuga ebisengukiddwamu. Ennyumba asula mu bifulukwa ebisuliridde okugwa.
29
Obugagga bwe buliyita buyisi, talimala nabwo kiseera kiwanvu. Naye yennyini taliwangaala.
30
Walumbe alimwefuga mu kizikiza. Aliba ng'amatabi g'omuti agababuddwa omuliro, n'ebimuli byagwo ebitwalibwa embuyaga.
31
Bwe yeesiga ebitalina mugaso aba yeerimba, kubanga alisasulwamu ebyo.
32
Alikala mangu ng'ettabi, n'ataddamu kuggumiza.
33
Aliba ng'omuzabbibu ogukunkumula ebibala byagwo ebitannaba kwengera; era ng'omuzayiti ogukunkumula ekimuli.
34
Kubanga abatassaamu Katonda kitiibwa banaabeeranga bagumba. Era omuliro gunaayokyanga amayumba ge baggya mu kulya enguzi.
35
Bakola bya kabi ebiva mu ttima lyabwe. Bajjudde bukuusa.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42