bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 31
Job 31
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 32 →
1
“Nalagaanya amaaso gange okugeekuumanga. Kale ate nandiyinzizza ntya okugeekaliriza omuwala?
2
Katonda yampa mugabo ki ogwa waggulu gy'ali? Nafuna basika ki okuva mu ggulu ew'Omuyinzawaabyonna?
3
Akabi tekajjira boonoonyi? N'ennaku tegwira babi?
4
Katonda talaba kkubo lye nkutte? Talaba buli kigere kye nsitula?
5
Oba natambulira mu bulimba, ebigere ne bintwala mu bukuusa,
6
mpimibwe mu minzaani epima ekituufu, Katonda amanye bwe ndi ataliiko kye nvunaanibwa.
7
“Oba nava mu kkubo ettuufu, ne mpugulwa bye ndaba, ebinteekako ebbala,
8
kale bye nsiga biriibwe omulala. Emmere gye mbaza ekuulibwe esuulwe.
9
Oba neegomba muk'omusajja omulala, ne nteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
10
kale mukazi wange afumbire omusajja omulala, era abalala basule naye;
11
kubanga ekyo kyandibadde kya kivve. Ddala kyandibadde kibi ekireetebwa mu balamuzi.
12
Kyandibadde muliro ogwokya, oguzikiriza. Gwandiwemmense buli kye nnina kyonna.
13
“Oba nagaana okuwulira omuddu wange oba omuzaana wange nga banneemulugunyiza,
14
kale ndikola ntya Katonda bw'alisituka? Ndimuddamu ki bw'alijja okumbuuza?
15
Eyantonda mu lubuto, era naye si ye yamutonda? Si ye omu eyatubumba mu lubuto ffembi?
16
Nali nnyimye abaavu bye beetaaga? Nali mmazeeko nnamwandu essuubi?
17
Nali ndidde emmere yange nzekka nga mulekwa taliddeeko?
18
Okuva obuto bwange, nalabiriranga mulekwa nga kitaawe.
19
Bwe nalabanga omuntu afa olw'okubulwa ekyokwambala, oba omwavu atalina kye yeebikka,
20
nga mmubugumya n'ekyambalo ekikoleddwa mu byoya by'endiga zange.
21
Oba nali ndyazaamaanyizza mulekwa nga ndabye nti abalamuzi banannyamba,
22
kale ekibegabega kyange kiweekukeko. N'omukono gwange gumenyeke eggumba.
23
Nali siyinza kukola bintu biri ng'ebyo, kubanga ntya Katonda.
24
“Nali ntadde essuubi lyange mu zaabu? Nali ŋŋambye zaabu omulungi nti: ‘Ggwe bwesige bwange?’
25
Nali ntadde essanyu lyange mu byobugagga bwange obungi? Wadde okwesiima olw'endulundu y'ebintu?
26
Nali ntunuulidde enjuba mu kwaka kwayo, oba obulungi bw'omwezi ogumasamasa,
27
omutima gwange ne gusikirizibwa mu nkukutu; ne nnywegera ekibatu kyange okulaga bwe mbigulumiza?
28
Na kino kyandibadde kibi ekireetebwa mu balamuzi, kubanga nandibadde neegaanye Katonda ali waggulu.
29
Nali nsanyukidde okuzikirira kw'oyo ankyaye; oba okujaganya ng'akabi kamujjidde?
30
Saaganya kamwa kange kwonoona, nsabe nga nkolima, nti afe.
31
Ddi ababeera mu maka gange lwe bataabuuza nti: ‘Ani atakkuse nnyama Yobu gy'agabula?’
32
Abatambuze mbaaniriza, sireka basule ku kkubo.
33
Sikwekanga nsobi zange ng'abantu abakisa ebibi byabwe,
34
olw'okutya ekibiina ky'abantu, n'okunyoomebwa ab'eŋŋanda. Ne nzira awo ne nsirika, ne nnema n'okuva mu nnyumba.
35
“Kale singa waliwo awuliriza bye ŋŋamba! Bye byange ebyo bye nkakasa. Omuyinzawaabyonna anziremu. Nandyagadde oyo ampawaabidde ampe omusango mu buwandiike.
36
Mazima nandigusitulidde ku kibegabega kyange gulabibwe. Nandigutikkidde ng'engule ku mutwe gwange.
37
Nandimuttottoledde buli kigere kye nsitula. Nandimusemberedde nga sirina kye ntyamu.
38
Singa nabba bubbi ekibanja kye nnimamu, nga kireekaana okukiddiza nnyinikyo,
39
ne ndya ebibala byamu nga sisasudde, ne ndeka enjala ette bannyinikyo,
40
kale omwennyango gukulemu mu kifo ky'eŋŋaano; ne ssere mu kifo kya bbaale.” Ebigambo bya Yobu bikomye awo.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42