bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 11
Job 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 12 →
1
Awo Zofari Omunaamati n'addamu ng'agamba nti:
2
“Ebigambo ebingi bwe bityo tebisaanye kuddibwamu? Okwogera ebingi kye kyejjeereza omuntu?
3
Okwenyumiriza kwo kunaasirisa abalala? Bw'okudaala bw'otyo tewaabe n'omu akuwemuukiriza?
4
Kubanga ogamba nti: ‘By'okkiriza bye bituufu, era nti Katonda alaba nti toliiko ky'ovunaanibwa.’
5
Naye nandyagadde Katonda ayogere naawe butereevu.
6
Akubuulire eby'amagezi ebikisiddwa, ebitamanyika kuggwaayo. Kale manya nti Katonda akubonereza kitono okusinga bw'osaanira.
7
“Oyinza okunoonyereza ebifa ku Katonda Omuyinzawaabyonna, n'obizuula n'obimalayo?
8
Bigulumivu okusinga eggulu. Oyinza kukola ki? Bikka wansi okusinga emagombe, oyinza otya okubimanya?
9
Bw'obipima bisinga ensi obunene, n'ennyanja bigisinga obugazi.
10
Katonda bw'ajja n'asiba abantu mu kkomera, n'abayita okusalirwa omusango, ani ayinza okumuziyiza?
11
Katonda amanyi abantu abataliiko kye bagasa. Bw'alaba ebibi bye bakola tabifaako?
12
Bw'erizaalibwayo entulege enteefu n'abasiru balitandika okutegeera.
13
“Bw'oneenenya mu mutima gwo, onoogololera emikono gyo eri Katonda.
14
Bw'oba n'ebikyamu by'okola obyewale. Oleme kukkiriza bibi kubeeranga mu maka go.
15
Onootunulanga nga teweebwalabwala. Onoobanga n'emirembe nga tolina ky'otya.
16
Kubanga olyerabira ennaku yo, nga bwe weerabira amazzi agakulukuse ne gagenda.
17
Obulamu bwo bulyakaayakana okusinga omusana ogw'ettuntu. Ekiseera kyabwo eky'ekizikiza kirifuuka ekitangaala eky'oku makya.
18
“Onoobanga n'emirembe olw'okuba n'essuubi. Katonda anaakukuumanga n'owummula nga tolina ky'otya.
19
Oneebakanga nga tewali akutiisa. Bangi banaakusabanga obuyambi.
20
Naye ababi banaamagamaganga, ne babulwa obuddukiro. Essuubi lyabwe liri mu: Kufa.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42