bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 20
Job 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 21 →
1
Awo Zafari Omunaamati n'addamu ng'agamba nti:
2
“Olw'ebigambo by'oyogedde ebirowoozo byange bimpalirizza okwanguwa okubaako kye ŋŋamba.
3
Mpulidde ebinnenya ebivuma, omutima ne gumpabula kye nnina okukwanukula.
4
“Ggwe tokimanyi nti okuva ddi bukya muntu ateekebwa ku nsi
5
Essanyu ly'omubi liba limpi? N'atassaamu Katonda kitiibwa asanyukako kaseera buseera?
6
Ne bw'akula okuwagguuka okutuuka eyo ku ggulu ng'omutwe gwe gutuuka ne ku bire,
7
alifuuyibwa embuyaga n'emumalawo ng'enfuufu. Abo ababadde bamulaba balyebuuza gye yalaga.
8
Alibulawo nga kirooto nga kulabikirwa kwa mu kiro, n'ataddayo kulabikako.
9
Taliddayo kukubikako kimunye; Alibulawo mu kifo we yabeeranga.
10
“Abaana be baliddiza abaavu obugagga bwe yali ababbyeko.
11
Eryanyi ly'abadde alina mu buvubuka, aligalamira nalyo mu nfuufu.
12
Wadde ng'ekibi kimuwoomera nga sukaali mu kamwa ke, n'akikwekako ne wansi w'olulimi lwe,
13
n'akisigaza mu kamwa agire ng'akyanuuna,
14
naye emmere ye emukaayirira mu lubuto lwe, n'efuuka obusagwa bw'omusota mu ye.
15
Asesema obugagga bwe yamira, Katonda n'abumuggya mu lubuto.
16
Ky'anuuna kiri nga butwa: kimutta nga bwe yandittiddwa essota ery'obusagwa.
17
Taliwangaala kulaba ku birungi Katonda by'agaba, ebiri ng'emigga egikulukuta omubisi gw'enjuki n'amata.
18
Aliwaayo bye yateganira byonna, talibirya kumukka mu lubuto. N'amagoba g'afunye taligeesiimiramu.
19
Kubanga yayisa bubi abaavu, n'abalekerera. Yanyaga amayumba g'ataazimba.
20
Olw'omululu gwe ogutamatira, taasigazengawo na kimu ku ebyo by'ayagala.
21
Tewali ky'alya n'alekawo. N'okubeera obulungi kyekuliva kumuggwaako.
22
W'alibeerera n'ebingi ebivuluuja w'alirabira ennaku n'adooba, atuukibweko buli kizibu.
23
Ng'anaatera okulya okwekkutira Katonda anaamuyiwangako ekiruyi kye ekingi, ne kimufuukira emmere ye.
24
Alidduka ekyokulwanyisa eky'ekyuma, n'afumitibwa akasaale ak'ekikomo.
25
Kamuyitamu ne kafuluma: omumwa gwako ogumasamasa, ne guyita mu kalulwe ke. Alikwatibwa entiisa.
26
“Ebyobugagga bye bitokomoka. Omuliro ogutakumwa bantu gulimwokya, ne gusaanyaawo ne by'asigazzaawo mu nnyumba.
27
Eggulu liryerula ebibi bye, n'ensi n'emulumiriza.
28
Eby'omu nnyumba ye birinyagibwa, ne bitwalibwa ku olwo Katonda lw'alisunguwala.
29
Ogwo gwe mugabo Katonda gwe yawa omwonoonyi. Bwe busika bwe yamuteerawo.”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42