bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Job 19
Job 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 20 →
1
Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti:
2
“Mulituusa wa okunneeraliikiriza, n'okumbetentera mu bigambo?
3
Emirundi kkumi ddamba muli ku nze mwevumira. Okumpisa mutyo temuswala?
4
Ne bwe nandibadde omusobya, mazima ensobi yange, era yandikosezza nze.
5
Ne bwe munanneekulumbalizaako, ne musinziira ku buyinike bwange mukakase nti ndi mwonoonyi,
6
musaanye mumanye nti Katonda kino ye akintuusizzaako, n'anzingiza n'ekitimba ankwase.
7
“Laba, bwe ndeekaana nti: ‘Banzita!’ tewaba ampulira. Bwe nkuba enduulu bannyambe, tewali antaasa.
8
Katonda azibye ekkubo lyange, sirina nze bwe mpitamu. Amakubo agafudde ga nzikiza.
9
Ekitiibwa akinnyambudde, aggye engule ku mutwe gwange.
10
Ammenyeemenye enjuyi zonna, sikyaliko bwe ndi! Essuubi lyange alikudde nga muti.
11
Ansibidde obusungu obwaka ng'omuliro. Ampisa nga mulabe we.
12
Amagye ge gajjira wamu ne gategeka okunnumba. Ne gasiisira okuzingiza eweema yange.
13
“Baganda bange Katonda anjawukanyizza nabo. N'abamanyi banfuukidde nga be simanyi.
14
Abooluganda banneggyeeko. Mikwano gyange ennyo nabo banjabulidde.
15
Nneerabiddwa be nakyazanga omwange. Abawala abaakolanga ewange bampisa nga mugwira. Bandaba nga munnaggwanga.
16
Omuddu gwe mpita tampitaba, ne bwe mmwegayirira tanfaako.
17
Mukyala wange anneesamba. Abaana ba mmange tebansemberera.
18
N'abaana abato bannyooma. Bwe nsitukawo ne beesekera.
19
Bonna mikwano gyange ennyo bankyaye. Be nayagalanga banneegaanye.
20
Nsigaddeko lususu na magumba. Mponedde watono obutafa.
21
Munsaasire, munsaasire mikwano gyange mmwe! Kubanga Katonda ankubye omuggo!
22
Munjigganyiza ki nga Katonda bw'anjigganyizza? Kye mbonyeebonye tekibamala?
23
“Singa okwemulugunya kwange kuwandiikiddwa! Singa kukubiddwa mu kitabo.
24
Singa kwoleddwa mu lwazi n'ekkalaamu ey'ekyuma, ne bajjuza mu nnukuta essasi essaanuuse, kusomebwenga ennaku zonna.
25
Naye mmanyi ng'Omununuzi wange mulamu: ye alisalawo eky'enkomerero ku nsi.
26
Ndiraba Katonda nga nnina omubiri; wadde ng'endwadde eridde olususu lwange.
27
Ndimulaba nze nzennyini n'amaaso gange nga ye oyo, sso si mulala. Omutima gwange gweraliikirira.
28
Bwe mugamba nti: ‘Ka tumuyigganye nno ensonga kwe tusinziira eri mu ye’,
29
mutye ekitala: kubanga obusungu bwegwanyiza okubonerezebwa n'ekitala, mulyoke mumanye nti eriyo okusala omusango.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42