bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 1
Job 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 2 →
1
Waaliwo omusajja mu nsi Uzzi, erinnya lye Yobu. Omusajja eyatuukirira, owa mazima, ng'atya Katonda, era yeewalanga okukola obubi.
2
Yalina abaana ab'obulenzi musanvu, n'ab'obuwala basatu.
3
Yalina endiga kasanvu (7,000), eŋŋamira enkumi ssatu (3,000), emigogo gy'ente bitaano (500), n'endogoyi enkazi bitaano (500), n'abaweereza bangi nnyo ddala. Omusajja ye yali asinga obugagga mu bantu bonna ab'ebuvanjuba.
4
Batabani be baagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli omu ku bo, buli muntu ku lunaku lwe; nga batumya bannyinaabwe abasatu, okujja okulya n'okunywa nabo.
5
Awo olwatuuka ennaku z'embaga yaabwe bwe zaggwanga, Yobu n'abatumyanga n'abatukuzanga. Yagolokokanga mu makya, n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa ku buli omu, kubanga Yobu yayogeranga nti, “Oboolyawo batabani bange boonoonye, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga olutata.
6
Awo olunaku lwali lumu, abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo.
7
Mukama n'abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Awo Setaani n'addamu Mukama nti, “Nva kuyitaayita mu nsi n'okutambulatambula omwo eruuyi n'eruuyi.”
8
Mukama n'abuuza Setaani nti, “Olowoozezza ku muweereza wange Yobu? Kubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, anzisaamu ekitiibwa, era eyeewala okukola ebibi.”
9
Awo Setaani n'addamu Mukama nti, “Yobu atiira bwereere Katonda?
10
Tomusizaako lukomera okumwetooloola, ye n'ennyumba ye, ne byonna by'alina? Owadde omukisa byonna byakola, n'ebintu bye byaze mu nsi.
11
Naye kaakano golola omukono gwo omuggyeko byonna by'alina, ajja ku kwegaanira mu maaso go.”
12
Mukama n'agamba Setaani nti, “Kale byonna by'alina biri mu buyinza bwo, kyokka ye yennyini tomukolako kabi.” Awo Setaani n'ava mu maaso ga Mukama.
13
Awo olunaku lwali lumu batabani be ne bawala, be bwe baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
14
omubaka n'ajja eri Yobu n'agamba nti, “Ente bwe zibadde nga zirima, nga n'endogoyi ziziriraanye, nga zirya,
15
Abaseba ne bazizinda, ne bazinyaga. Basse abaddu bo ne kitala, era nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzijja okukubuulira.”
16
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'amugamba nti, “Omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, era gwokezza endiga n'abaddu ne gubazikiriza. Era nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
17
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, naye n'amugamba nti, “Abakaludaaya, nga beegabanyizzamu ebibinja bisatu, bazinze ŋŋamira, era bazitutte. Basse abaddu ne kitala, nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija ”
18
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
19
omuyaga ogw'amaanyi ne guva mu ddungu, ne gukuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwako, era bafudde, nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
20
Awo Yobu n'asituka n'ayuza ekyambalo kye, n'amwa omutwe, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Katonda.
21
n'agamba nti, “Nnava mu lubuto lwa mmange, nga ndi mwereere, era ndifa nga ndi mwereere. Mukama ye yampa, era Mukama ye aggyeewo. Erinnya lya Mukama lyebazibwe.”
22
Mu ebyo byonna Yobu teyayonoona, era teyanenya Katonda.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42