bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 13
Job 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 14 →
1
Kale ebyo byonna nnabiraba, Era nnabiwulira dda ne mbitegeera.
2
Bye mumanyi era nange mbimanyi, Mmwe temunsinga.
3
Mazima njagala okwogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Njagala okwanjulira Katonda ensonga yange.
4
Naye mmwe mugunja eby'obulimba, Mmwenna muli basawo abatasobola kuwonya.
5
Singa musirikidde ddala! Lwe mwandiraze bwe mulina amagezi.
6
Muwulirize kye ŋŋamba, Mutege amatu muwulirize empoza yange.
7
Munaawolereza Katonda nga mwogera ebitali bituufu, Era nga muleeta eby'obulimba?
8
Munaasaliriza ku lulwe? Munaawolereza Katonda?
9
Mulowooza munaaba bulungi singa Katonda abakebera? Munaamulimba ng'abantu bwe balimbalimba bannaabwe?
10
Taaleme kubanenya, Ne bwe munaakweka okusaliriza kwammwe.
11
Ekitiibwa kye tekiibatise, N'ensisi ye n'ebagwako?
12
Engero zammwe tezigasa: ziri nga vvu. Ebigambo byammwe bimetentuka nga bbumba.
13
Musirike, mundeke njogere, Ebinanzijira, binzijire.
14
Obulamu bwange sibutwala nga kintu, Ka nneeveemu mpeeyo obulamu bwange!
15
Katonda anzite, sikyalina kye nsuubira. Naye nja kuwoleza ensonga zange mu maaso ge.
16
Era ekyo kye kinandokola, Kubanga omusajja atatya Katonda tayinza kuyimirira
17
Muwulirize ebigambo byange, Mufumiitirize kw'ebyo bye njogera.
18
Maze okusengeka empoza yange, Mmanyi nja kwejjerezebwa.
19
Ani aneesowolayo okunnumiriza omusango? Bwabayo kaakano, n'asirika era nfe.
20
Mpaayo ebintu bibiri byokka, Olwo nneme okukwekweka.
21
Nzigyako omukono gwo ogumbonereza, Era lekerawo okunkanga n'okuntiisa.
22
Nkoowoola nange nnaayitaba, Oba leka njogere, naawe onziremu.
23
Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange bye biruwa? Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange.
24
Lwaki oneekweka, N'ompita omulabe wo?
25
Onootiisa nze akakoola akatwalibwa empewo? Era onooyigganya nze akasasiro akakaze?
26
Ompandiiseko ebigambo ebikaawa, Era onvunaana okwonoona okw'omu buto bwange.
27
Osiba ebigere byange mu nvuba, era olamba buli we mpita, Olondoola ebigere byange yonna gye biyita.
28
Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivunda ne kiggwaawo, Oba ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42