bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 14
Job 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 15 →
1
Omuntu azaalibwa omukazi, Ennaku ziba ntono, era nga za buyinike.
2
Amulisa ng'ekimuli ate n'awotoka, Abulawo ng'ekisiikirize, era tabeererawo ddala.
3
Katonda, ofaayo nnyo okuntunuulira? Oba okundeeta mu maaso go onsalire omusango?
4
Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali kirongoofu? tewali n'omu.
5
Kubanga ennaku omuntu za wangaala wazisalawo dda, Wamugerekera n'omuwendo gw'emyezi gye, Era wa mupimira n'ekiseera ky'atayinza kusukkako.
6
Kale muggyeeko amaaso go awummuleko, Alyoke amaleko olunaku lwe ng'omupakasi akolera empeera.
7
Wabaawo essuubi omuti bwe gutemebwa, Kubanga ku kikonge kyagwo kumerako ettabi eddala.
8
Emirandira gyagwo newakubadde nga gikaddiyira mu ttaka, N'ekikonge kyagwo ne kivundira mu ttaka,
9
Naye bwe gufuna amazzi, Gusibuka ne guleeta amatabi ng'ekisimbe ekiggya.
10
Naye omuntu afa n'aggweeramu ddala obulamu. Bw'assa ogw'enkomerero, kale aba akyali ludda wa?
11
Ng'ennyanja bw'eggwamu amazzi, Era n'omugga nga bwe gukalira ne guggwaawo,
12
Bw'atyo n'omuntu afa n'agalamira obutayimuka. Ng'eggulu likyali mu bbanga talizuukuka n'akatono. Talizuukusibwa mu tulo twe.
13
Singa onkwese emagombe, n'onkwekwa eyo, okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo. Era n'onteekerawo ekiseera, n'onjijukira!
14
Omuntu bw'afa aliddamu okuba omulamu nate? Nnandirindiridde ekiseera kyange kyonna, Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze.
15
Wandimpise, nange nandikuyitabye, N'osanyukira nze ekitonde kyo.
16
N'olabirira buli kigere kye ntambula, Naye n'ototunuulira kwonoona kwange.
17
Okusobya kwange kulisibirwa mu nsawo, Era olibikkako ebisobyo byange.
18
Ensozi zigwa ne ziseebengerera, N'olwazi luggibwawo mu kifo kyalwo.
19
Amazzi gaggwereza amayinja, Ne mukoka akuluggusa ettaka. Naawe bw'otyo bw'ozikiriza essuubi ly'omuntu.
20
Omusinza amaanyi n'omuggyirawo ddala. n'okyusa endabika ye mu kufa.
21
Batabani be batuuka ku kitiibwa, ye nga takimanyi, Era bwe batoowazibwa, tategeera bwe bali.
22
Awulira obulumi mu mubiri gwe, Naanakuwala mu mmeeme ye.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42