bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 21
Job 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 22 →
1
Awo Yobu n'addamu n'agamba nti:
2
“Muwulirize n'obwegendereza ebigambo byange, Ekyo kye kinaampa emirembe.
3
Munzikirize, njogere, Kale nga mmaze okwogera, munaayongera ne muduula.
4
Nze sinnemulugunyiza abantu. Kale lwaki siba atali mugumiikiriza?
5
Muntunuulire, mwewuunye, Era mukwate ne ku mumwa!
6
Bwe ndowooza ku kyantuukako, nneekanga, Nneesisiwala nzenna.
7
Lwaki Katonda aleka ababi okuwangaala, Ne bakaddiwa nga ba maanyi?
8
Bafuna abaana n'abazzukulu, Ne babeerawo okulaba bwe bakula.
9
Baba mu mirembe mu maka gaabwe nga tebalina kibatiisa, Ne Katonda tababonereza n'akatono.
10
Ente zaabwe ziwaka, Ne zizaala bulungi nga tewali esowodde.
11
Bazaala omuyeye gw'abaana, Ne baligita ng'obuliga.
12
Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, Ne banyumirwa eddoboozi ly'omulere.
13
Bafuna ebirungi mu bulamu bwabwe, Era bafiira mu mirembe.
14
Era naye ne bagamba Katonda nti: Tuveeko, Kubanga tetwagala kumanya makubo go.”
15
“Ye ani Omuyinza w'ebintu byonna tumuweerezenga? Kitugasa ki okumusabanga?
16
Bo bagamba nti bye bafuna babifuna lwa maanyi gaabwe. Okuteesa kw'ababi sikukkiriza.
17
Ettaala y'ababi ddi lwe zikizibwa? N'obuyinike bubatuukako ddi? Era ddi Katonda lwe yali ababonereza mu busungu?
18
Ne baba ng'ebisasiro ebitwalibwa n'empewo, Oba ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga?
19
Mugamba nti, ‘Katonda abonereza abaana olw'ebibi bya bakitaabwe.’ Naye bakimanye nti Katonda ababonereza lwa bibi byabwe bo bennyini.
20
Ababi balabe okuzikirira kwabwe bo, Banywe ku busungu bw'Omuyinza w'ebintu byonna.
21
Kubanga bwe bamala okufa, Bafaayo kw'ebyo ebituuka ku b'omu maka gaabwe?
22
Omuntu ayinza okuyigiriza Katonda? Asalira omusango n'abo abali mu bifo ebya waggulu?
23
Wabaawo omu afa ng'ali bulungi, Ng'ateredde ng'alina emirembe.
24
ng'omubiri gwe munene, munyirivu, Ng'alabikira ddala nga muvubuka.
25
N'omulala afa mwennyamivu, Nga tafunangako ssanyu.
26
Bombi bagalamira mu nfuufu, Ne babikkibwako envunyu.
27
Mmanyi ebirowoozo byammwe, N'akabi ke muteesa okunkolako.
28
Kubanga mubuuza nti, ‘Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Ennyumba y'abaakolanga ebibi eri ludda wa?’
29
Temwababuuza abatambula engendo? Temuwuliranga mawulire ge badda nago,
30
Nti akabi lwe kagwawo omuntu omubi y'awonawo? Ne Katonda lw'asunguwala, era akola ebibi gwataliza?
31
Ani ayinza okwesimba mu maaso ge amulumirize omusango? Era ani anaamusasula nga bwe yakola?
32
Bw'alitwalibwa mu ntaana, Amalaalo ge bagakuuma.
33
Abantu bangi abamuwerekera okumuziika, Abamu bakulemberamu, n'abalala ne bavaako emabega, Ne bamuyiwako bulungi ettaka.
34
Kale nno munambudaabuda mutya nga mwogera ebigambo ebitaliimu? Kubanga bye munziramu byonna bya bulimba.”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42