bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 7
Job 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 8 →
1
“Obulamu bw'omuntu ku nsi bwa kufaabiina. Bwakukuluusana ng'obw'akolera empeera.
2
Ng'omuddu eyeegomba okubeera mu kisiikirize, Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye:
3
Bwe ntyo nange bwe nnaweebwa emyezi egitangasa, N'ebiseera eby'ekiro ebyanteekerwawo bya buyinike gyendi.
4
Bwe ngalamira ne nneebuuza nti: Bunaakya ddi? ng'ekiro tekigwako, Era nsula nkulungutana okukeesa obudde.
5
Omubiri gwange gujjudde envunyu n'obujama. Olususu lwange lufukuuka ne lufulumya amasira.
6
Ennaku zange zidduka okusinga n'ewuzi z'omutunzi w'olugoye ku kyalaani. Era ziggwaako nga tewali ssuubi.
7
Jjukira ng'obulamu bwange mukka, Amaaso gange tegakyaddayo kulaba birungi.
8
Eriiso erintunulako teririddayo kundabako. Amaaso galinnoonya, naye nga siriiwo.
9
Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula, Bw'atyo n'oyo akka emagombe tagenda kwambuka aveeyo.
10
Takomawo nate mu nnyumba ye, N'abantu be yabeeranga nabo bamwerabira.
11
Kyennaava nange siisirika, Kaanjogerere mu bubalagaze bw'omwoyo gwange; Nga nneemulugunya lw'obuyinike obundi ku mwoyo.
12
Ndi nnyanja, oba kikulejje eky'omu nnyanja, N'okussaako n'onzisaako abankuuma?
13
Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa, N'obuliri bwange bunerabize okwemulugunya kwange;
14
Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto, N'onkanga n'okwolesebwa:
15
Emmeeme yange neyeegomba okutugibwa, Nfe okusinga okuba amagumba gano.
16
Ntamiddwa obulamu bwange; siribeerawo ennaku zonna. Ndeka; kubanga obulamu bwange mukka bukka.
17
Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza, Era ggwe okumussaako omwoyo gwo?
18
N'okumujjira buli nkya, N'omugeza buli kaseera?
19
Olituusa wa obutanzigyako maaso, N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange?
20
Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu? Kiki ekyakunteesaawo okuba eky'okunyigirizakwo, Lwaki nfuuse omugugu gy'oli?
21
Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano ngenda kufa ngalamire mu nfuufu, Naawe bw'olinnoonya, ndiba siikyaliwo.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42