bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 9
Job 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 10 →
1
Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti:
2
“Mazima mmanyi nga bwe kityo bwe kiri. Naye omuntu ayinza okuwoza ne Katonda n'asinga?
3
Bw'ayagala okuwoza naye, Katonda bwamubuuza ebibuuzo olukumi (1,000), Tayinza kumuddamu kigambo na kimu.
4
Katonda mugezi, era wa maanyi, Ani amuwakanya n'alaba omukisa?
5
Asiguukulula ensozi nga talina gw'abuulidde, N'azisaanyawo mu obusungu bwe.
6
Katonda aleeta okukankana kw'ensi, Empagi zaayo ne zikankana.
7
Alagira enjuba n'etevaayo; N'emmunyeenye n'azibikkako ne zitayaka.
8
Yabamba eggulu yekka, Era yekka yakkakkanya amayengo g'ennyanja.
9
Yawanga emmunyeenye: Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga, N'emmunyeenye ez'obukiikaddyo.
10
Akola ebikulu ebitategeerekeka, N'eby'amagero ebitabalika.
11
Kale ampitako, ne ssimulaba. Ne yeyongerayo mu maaso, kyokka ne simwetegereza.
12
Bw'ayagala okutwala ekintu, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamubuuza nti, ‘Okola ki?’
13
Obusungu bwa Katonda tebukoma, Abeteenta abalabe be, abayambi ba Lakabu.
14
Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Nnyinza okufuna ebigambo okuwoza naye?
15
Newakubadde nze sirina musango, siyinza kwewolereza. Wabula okwegayirira Katonda, omulamuzi wange ansaasire.
16
Ne bwe nandimukoowodde naye n'anziramu, Sandikkiriza nti awulidde eddoboozi lyange.
17
Kubanga ankubisa kibuyaga, N'annyongera ebiwundu awatali nsonga.
18
Taŋŋanya kussa ku mukka, Naye anjijuza obubalagaze.
19
Bwe kuba kukozesa maanyi, ye agansinza. Bwe kuba kuwoza musango, ani ananteekerawo obudde obw'okuguwulira?
20
Newakubadde nga siriiko musango, byenjogera binsaliza okunsinga. Newakubadde nga sirina musango, ajja kulaga nga bwe ndi omukyamu.
21
Nze siriiko musango, sikyerowoozaako, Naye nneetamiddwa obulamu bwange.
22
Bwonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti, Azikiriza abataliiko musango, n'abakola ebibi.
23
Akabi bwe kagwa ne kattirawo abantu, Akudaalira abataliiko musango, ababonaabona.
24
Katonda yawaayo ensi mu mikono gy'ababi Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si Katonda, kale ani?
25
Ennaku zange ziri ku misinde okusinga n'omuddusi, Ziggwaako nga sizifunyeemu kalungi konna.
26
Ziyise ng'amaato ag'embiro, Ng'empungu ekka ku muyiggo.
27
Bwe ŋŋamba nti ka nneerabira okwemulugunya kwange, Mmweenyeeko nsanyuke,
28
Awo ne nzijirwa okutya obuyinike bwange bwonna, Kubanga mmanyi nga toligamba nti siriiko musango.
29
Omusango gulinsinga; Kale nteganira ki obwereere?
30
Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Ne ntukuza engalo zange ne sabbuuni,
31
Era naye olinsuula mu kinnya ekijama, N'engoye zange ne zintamwa.
32
Kubanga Katonda si muntu nga nze, nze okumuddamu, Newakubadde okuwoza naye.
33
Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Anaatuwozesa n'atusalirawo.
34
Katonda alekere awo okumbonyaabonya, Era aleme okunkanga n'okuntiisa.
35
Olwo nnyinza okwogera nga sitya, Naye si bwe ntyo bwe ndi.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42