bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 20
Job 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 21 →
1
Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'agamba nti:
2
“Olw'ebigambo by'oyogedde ebirowoozo byange, Bimpaliriza okwanguwa okubaako kye njogera.
3
By'oyogedde binyiizizza, Ne mpulira nga nteekwabuteekwa okukwanukula.
4
Ggwe tokimanyi okuva ddi, Bukya omuntu ateekebwa ku nsi,
5
Essanyu ly'ababi liba limpi? Era n'essanyu lya bo abatatya Katonda lya kaseera buseera?
6
Ne bw'akula n'aba muwagguufu okutuuka N'omutwe gwe nga gutuuka ku bire,
7
Naye alifuuyibwa embuyaga n'emumalawo ng'enfuufu. Abo abaamulabanga balyebuuza gye yalaga.
8
Alibulawo ng'ekirooto, n'atabeerawo. Oba alibulirawo ddala ng'okwolesebwa okw'ekiro.
9
Taliddayo kulabibwako, Nga n'ekifo we yabeeranga takyaliwo.
10
Abaana be baliddiza abaavu, Ebintu bye yali ababbyeko.
11
Newakubadde nga akyalina amaanyi ag'ekivubuka, Naye aligalamira nago mu nfuufu.
12
Ekibi newakubadde nga kimuwoomera mu kamwa ke, N'akikwekako ne wansi w'olulimi lwe,
13
N'akisigaza mu kamwa ke, Asigale ng'akyakinuuna,
14
Naye emmere ye mu lubuto lwe efuuka, Ng'obusagwa bw'omusota munda ye.
15
Obugagga bwe yamira anaabusesemanga nate: Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe.
16
Ky'anuuna kiri nga butwa: Kimutta nga busagwa bwa musota.
17
Taliwangaala kulaba ku birungi Katonda by'agaba, Ebiringa emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'amata.
18
Kye yateganira alikiwaayo kyonna, talikirya, Era taasanyukirenga mu bintu bye yafuna.
19
Kubanga yayisa bubi abaavu n'atabafaako, Yanyaga amayumba g'atazimba.
20
Kubanga omululu gwe tegwamuganya kumatira, Talisigaza kintu ku ebyo by'ayagala.
21
Bwalya talina kyasigazawo, Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw'olubeerera.
22
W'alibeerera n'ebingi ebivuluuja w'alirabira ennaku n'adooba, Atuukibweko buli kizibu.
23
Bw'aba ng'anaatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi, Ne kimufuukira emmere ye.
24
Alidduka eky'okulwanyisa eky'ekyuma, N'afumitibwa akasaale ak'ekikomo.
25
Kamuyitamu ne kafuluma: Omumwa gwako ogumasamasa, ne guyita mu kalulwe ke. Alikwatibwa ebitiisa.
26
Eby'obugagga bye biritokomoka, Omuliro ogutakumibwa bantu gulimwokya, Ne gusaanyaawo ne by'asigazzaawo mu nnyumba.
27
Eggulu liryerula ebibi bye, N'ensi n'emulumiriza.
28
Ebintu eby'omu nnyumba ye birinyagibwa Ku lunaku Katonda lw'alisunguwala.
29
Ogwo gwe mugabo gw'omuntu omubi oguva eri Katonda, Bwe busika Katonda bwe yamuteerawo.”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42