bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 19
Job 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 20 →
1
Awo Yobu n'addamu n'agamba nti:
2
Mulituusa wa okunkomekereza, N'okunneeraliikiriza n'ebigambo?
3
Mwakanvumira emirundi kkumi, Temukwatiddwa nsonyi kumpisa mutyo?
4
Era ne bwe kyandibadde nti nnayonoona, Okwonoona kwandibadde ku nze nzekka.
5
Ne bwe munanneegulumirizaako, Nga mufuula obuyinike bwange ekibi,
6
Mutegeere nno nga Katonda kino yakintusizzaako, Era ye yanzingiziza.
7
Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye tewali ampulira, Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa.
8
Katonda azibye ekkubo lyange, siyinza kuliyitamu. Era amakubo gange agataddemu ekizikiza.
9
Anzigyeko ekitiibwa kyange, Era aggye engule ku mutwe gwange.
10
Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze: N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti.
11
Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze, Era ampisa omu ku balabe be
12
Amagye ge gakungaana wamu, ne geteekateeka okunnumba, Ne gasiisira okuzingiza ennyumba yange.
13
Katonda anjawukanyiza ne baganda bange, N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi.
14
Ab'ekika kyange baneesambye, Ne mikwano gyange ennyo banjabulidde.
15
Abo be nakyazanga mu nnyumba yange n'abazaana bange banneerabidde Bandaba nga munnaggwanga.
16
Mpita omuddu wange n'atanjitaba, Ne bwe mmwegayirira tanfaako.
17
Mukyala wange anneesamba. Abaana ba mmange tebansemberera.
18
N'abaana abato banyooma. Bwe nsitukawo nga banjogerako bubi.
19
Emikwano gyange ennyo nabo bantamiddwa, N'abo be nnayagalanga ennyo baneefuulidde.
20
Nsigadde magumba meereere, Era mponedde watono obutafa.
21
Munsaasire, munsaasire, mmwe mikwano gyange, Kubanga omukono gwa Katonda gunyigiriza.
22
Lwaki munjigganya nga Katonda bw'anjigganyizza? Kye mbonyeebonye tekibamala?
23
Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa! Singa biwandiikiddwa mu kitabo!
24
Singa byoleddwa ku lwazi n'ekkalaamu ey'ekyuma, N'ekisasi bibeerewo emirembe gyonna.
25
Naye mmanyi ng'Omununuzi wange mulamu, Era ye yalisalawo eky'enkomerero ku nsi:
26
Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda,
27
Gwe ndiraba nze nzennyini, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Omutima gwange gweralikirira.
28
Bwe munaagamba nti, “Katumuyigganye, Kubanga ye yavaako okumuyigganya.”
29
Mutyenga ekitala: Kubanga obusungu buleeta okubonereza n'ekitala, Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42