bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 32
Job 32
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 33 →
1
Awo abasajja abo abasatu ne balekerawo okuddamu Yobu, kubanga yabalaga nti yali talina kibi kye yali akoze.
2
Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mutuukirivu n'anenya Katonda.
3
Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gya Yobu abasatu kubanga baabulwa kye baddamu Yobu, naye ne bamusalira busalizi musango.
4
Era Eriku yali alindirira okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abali baamusinga obukulu.
5
Awo Eriku bwe yalaba nga abasajja abo abasatu tebakyalina bigambo bya kwanukula Yobu, obusungu bwe ne bubuubuuka.
6
Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'agamba nti, “Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo, Kyennavudde ntya ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza.
7
Ne ŋŋamba nti, ‘Abakadde ka boogere, Kubanga emyaka gyabwe giraga amagezi.’
8
Naye omwoyo wa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, Ajja ku bantu n'abawa okutegeera
9
Okukula si kwe kugeziwala, Abakulu si be bagezi, So n'okukaddiwa si be bategeera ekituufu.
10
Kyenva ŋŋamba nti; Mumpulirize, Nange mbategeeze kye ndowooza.
11
Mbawuliriza nga mwogera, Mpulire oba nga munayogera ebya makulu, Naye nga ebigambo munoonya binoonye.
12
Mbawuliriza bulungi, Sirabye n'omu avuganya Yobu mu bigambo, Wadde asobodde okumwanukula.
13
Mwekuume muleme kwewaana nti amagezi mugazudde. Katonda ye ayinza okumuwangula, si bantu.
14
Ebigambo bye tabyolekezza nze. Nange ssiimuddemu na bigambo ebiringa ebyo ebyammwe.
15
Basobeddwa, babuliddwa eby'okuddamu, Tebakyalina kya kwogera.
16
Kale nange nsirike busirisi nga nabo bwe basirise? Tebakyalina kye baanukula?
17
Naye nze nja kubaako kye nziramu. Nnabategeeza kye ndowooza.
18
Eby'okwogera nnina bingi. Mpulira muli ekimpika njogere.
19
Omutima gwange gulinga omwenge omusu omusaanikire, Ogwagala okwabya mwe guteekeddwa.
20
Nina okwogera ndyoke mpeere. Nteekwa okubaako kye njogera.
21
Sijja kwe kubiira ku ludda lwa muntu yenna. Era sijja kubaako gwe mpaana.
22
Kubanga simanyi kuwaaniriza, Sikulwa ng'Omutonzi wange anziggyawo mangu.”
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42