bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 2
Job 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 3 →
1
Awo olunaku lwali lumu nate, abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama.
2
Mukama n'abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n'addamu Mukama nti, “Nva kuyitaayita mu nsi n'okutambulatambula omwo wano ne wali.”
3
Mukama n'agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira, ow'amazima, anzisaamu ekitiibwa, era eyeewala okukola ebibi. Era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wanzikirizisa, omuzikiririze obwereere.”
4
Setaani n'addamu Mukama nti, “Eddiba olw'eddiba, weewaawo, byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe.
5
Naye kaakano golola omukono gwo, okwate ku magumba ge ne ku mubiri gwe, ajja kukuvumira mu maaso go.”
6
Mukama n'agamba Setaani nti, “Laba, ali mu buyinza bwo, kyokka mulekere obulamu bwe.”
7
Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'agenda n'alwaza Yobu amayute amabi ennyo omubiri gwonna, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
8
Yobu n'akwatanga oluggyo okweyaguza. N'atuulanga mu vvu.
9
Awo mukazi we n'amugamba nti, “Okyanywezezza obutayonoona bwo? weegaane Katonda, ofe.”
10
Naye Yobu n'amugamba nti, “Oyogera ng'omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! tunaaweebwanga ebirungi byokka okuva ewa Katonda ne tutaweebwa bibi?” Mu ebyo byonna Yobu teyayogera bubi ku Katonda.
11
Awo mikwano gya Yobu abasatu: Erifaazi Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi, bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne basalawo buli omu okuva ewuwe, ne bajja okumukaabirako n'okumukubagiza.
12
Awo bwe baamulengera nga bakyali wala ne batamutegeera, Ne batema emiranga, ne bakaaba, buli omu n'ayuza ekyambalo kye, ne beeyiira enfuufu ku mitwe gyabwe, era nga bwe bagimansa mu bbanga.
13
Awo ne batuula wamu naye ku ttaka okumala ennaku musanvu, emisana n'ekiro, nga tewali amugamba kigambo: kubanga baalaba okubonaabona kwe yalimu nga kungi nnyo ddala.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42