bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 36
Job 36
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 37 →
1
Era nate Eriku ne yeeyongera n'agamba nti;
2
“Ogira oŋŋumiikiriza mmale okukunnyonnyola, Kubanga nkyalinayo kye njagala okwogera ku lwa Katonda.
3
Okumanya kwange nkujja wala, Okutegeeza nti omutonzi wange mwenkanya.
4
Kubanga mazima ebigambo byange si bya bulimba: Omuntu alina okumanya okujjuvu ye ali naawe.
5
Katonda wa maanyi, era tanyooma muntu yenna. Talina kyatategeera.
6
Taleka babi kuba bulamu, Nabanyigirizibwa abawa ebibagwanidde.
7
Taggya maaso ge ku batuukirivu, Naye ku ntebe awali bakabaka, Gy'abateeka ne bagulumizibwa emirembe gyonna.
8
Era bwe baba nga basibiddwa mu masamba, Era nga babonyaabonyezebwa,
9
Katonda abalaga ebibi byabwe, N'amalala gaabwe.
10
Era aggulawo amatu gaabwe bawulire okulabula kwe, N'abalagira bave mu bibi byabwe.
11
Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balina omukisa, Era nga basanyuka.
12
Naye bwe batawulira, banaazikirizibwanga n'ekitala, Era banaafanga lw'obutamanya bwabwe.
13
Naye abo abatamanyi Katonda basiba obusungu ku mutima. Ne bw'ababonereza tebamusaba kubayamba.
14
Bafa nga bakyali bavubuka. N'enkomerero y'obulamu bwabwe ebasanga mu buswavu.
15
Naye Katonda ayigiriza abantu ng'ayita mu kubonaabona kwabwe. Era mu buyinike bwabwe mw'aggulira amatu gaabwe.
16
Katonda yakuggya mu kulaba ennaku, N'akuleeta mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa. N'emmeeza yo nejjula eby'okulya ebiwooma.
17
Naye ggwe omaze okusalirwa omusango, Tokyalina walala wonna wojjulira.
18
Waliwo obusungu, weegendereze oleme okulimbibwa obugagga. So n'enguzi ereme kukwonoona.
19
Obugagga bwo tebukuyambe, Wadde amaanyi go gonna, okukuwonya okubonaabona.
20
Teweegomba kiro kujja, Amawanga mwe gazikirizibwa amangwago.
21
Weekuume oleme okukola ebibi, Kubanga okubonaabona kwo kwajja kukutangira mu ekyo.
22
Katonda alina obuyinza bungi, Ani amwenkana mu kuyigiriza?
23
Ani eyali amulagidde ekkubo lye? Oba ani ayinza okumugamba nti: ‘Ky'okoze si kituufu?’
24
Jjukira okumutenderezanga olw'ebyo bye yakola. Abantu bye batenda mu nnyimba.
25
Abantu bonna ba biraba. Naye nga babirengerera wala.
26
Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi; Emyaka gye tegibalika.
27
Atwala waggulu amatondo g'amazzi, Agatonnya enkuba eva mu lufu lwe,
28
Ebire gye biyiwa, N'etonnyera abantu mu bungi.
29
Waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibikkibwa ku ggulu, Wadde ategeera okubwatuka kw'eggulu lye?
30
Asaasaanya okumyansa kw'eggulu okumwetooloola. N'obuziba bw'ennyanja n'abubukkako enzikiza.
31
Bwatyo bwaliisa abantu be N'abawa emmere nnyingi nnyo.
32
Akwata okumyansa kw'eggulu mu kibatu kye, N'alagira kukube gy'akwolekeza.
33
Okubwatuka kw'eggulu kulaga nti kibuyaga asembedde. N'ente zimanya nti ajja.
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42