bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 30
Job 30
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 31 →
1
Naye kaakano be nsinga obukulu be bansekerera. Bakitaabwe n'abanyoomanga be ssakkirizanga kubeera wamu n'embwa ezakuumanga ekisibo kyange.
2
Abantu abo bandingasizza ki, Abatakyalimu maanyi?
3
Olw'obwavu n'enjala, Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza mu ddungu.
4
Banoga enkunga mu ebisaka. N'emirandira gy'omwoloola ye mmere yaabwe.
5
Bagobebwa mu bantu, Ne bakubirwa enduulu ng'ababbi.
6
Bagwanira kubeera mu mifulejje ne mu miwaatwa; Mu bunya obw'omu ttaka ne mu mpuku ez'omu njazi
7
Bakaabira mu bisaka ng'ensolo, Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira.
8
Baana ba basirusiru, baana ba basajja abatamanyiddwa. Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu nsi.
9
Kale kaakano nze nfuuse oluyimba lwabwe, Nfuuse ngombo yaabwe.
10
Banneetamiddwa, banneesamba, Tebaleka kumpandira malusu mu maaso.
11
Kubanga Katonda andese n'ammala amaanyi, Kye bagala kye bakolera mu maaso gange
12
Ku mukono gwange ogwa ddyo esituseeyo abalalulalu: Bansindikiriza, Era bategeka okunnumba okunzikiriza.
13
Baziba ekkubo lyange, basobole okunzikiriza, Tewali wa kubaziyiza.
14
Bajja nga bayita mu kituli ekiwagule ekigazi: Mu matongo wakati okungwako.
15
Ebitiisa binzijjira, Ekitiibwa kyange kigenze ng'empewo. N'omukisa gwange guweddewo ng'ekire.
16
Kaakano obulamu bumpweddemu, Ekiseera eky'obuyinike kituuse.
17
Ekiro amagumba gameketa, N'obulumi bwe nnina tebusalako.
18
Amaanyi gaabwo gafuukudde omubiri gwange, Bunyigirizza ng'obulago bwe kyambalo kyange.
19
Katonda ansudde mu bitosi, Era nfuuse nga nfuufu na vvu.
20
Nkukaabira ayi Katonda so tonziramu. Nnyimirira, n'ontunuulira, butunuulizi.
21
Onfukidde omukambwe, Onjigganya n'amaanyi go gonna.
22
Ondeka embuyaga okunkuŋŋusa, N'onjuuyayuuyiza omwo.
23
Ddala mmanyi ng'ontwala mu kufa, Emagombe erigenda bonna abalamu.
24
Lwaki olumba omuntu azikirira, atakyalina maanyi? Atakyalina ky'ayinza kukola, wabula okusaba obuyambi?
25
Saamukaabira wamu n'abo abalinga mu nnaku? Era ssaanakuwaliranga wamu Nabali mu bwetaavu?
26
Bwe nnasuubira ebirungi, ebibi ate bye bijja, Era bwe nnalindirira omusana, ekizikiza kye kijja.
27
Omutima guncankalanye tegulina bwe guweera. Ekiseera eky'okubonaabona kituuse.
28
Ntambula nga nnakuwadde, sirina kusaasirwa. Nneesimba we bakungaanidde, ne nsaba bannyambe.
29
Ndi muganda wa bibe, Era mukwano gwa zi maaya.
30
Omubiri gwange guddugadde, gususumbuka, Mbunye ebbugumu nzenna.
31
Ennyimba ze nkuba ku nnanga yange, kati za kukungubaga. N'omulere gwange ngufuuyira abo abakaaba amaziga.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42