bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 42
Job 42
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
1
Awo Yobu n'addamu Mukama ng'agamba nti:
2
Mmanyi nga ggwe oyinza byonna, Era nga tewali kigambo kye wateesa ekiyinza okuziyizibwa.
3
Wabuuziza nti, “Ani oyo aziyiza okuteesa kwo ng'ayogeza obutamanya?” Mazima nayogedde ku bintu bye sitegeera, Eby'ekitalo ebyannemye okumanya.
4
Oŋŋambye nti, Wuliririza njogere, Nkubuuze, naawe onziremu.
5
Nnawuliranga buwulizi bye bakwogerangako, Naye kaakano nkulaba na maaso gange.
6
N'olwekyo menyese ne nneenenya Mu nfuufu n'evvu.
7
Awo Mukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo ebyo, n'agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkusunguwalidde nnyo ggwe ne banno bombi: kubanga temunjogeddeeko bigambo by'amazima, ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde.
8
Kale nno kaakano mutwale ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwayo ekyokebwa. Omuddu wange Yobu abasabire. Kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng'obusirusiru bwammwe bwe busaaanira, kubanga temunjogeddeeko bigambo bituufu ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde.”
9
Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda, ne bakola nga Mukama bw'abalagidde. Mukama n'akkiriza Yobu bye yabasabira.
10
Awo Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye, Mukama n'amuddizaawo obugagga bwe, yamuwa emirundi ebiri okusinga bye yalina olubereberye.
11
Awo baganda be bonna ne bannyina bonna, n'abo bonna be yamanyagananga edda, ne bajja ne baliira wamu naye ekijjulo mu nnyumba ye. Ne bamusaasira olw'obubi bwonna Mukama bwe yamutuusaako. Buli omu ku bo n'amuleetera ekitundu ekya ffeeza, n'empeta eya zaabu.
12
Awo Mukama n'awa Yobu omukisa mu kiseera ky'obulamu bwe ekyasembayo, okusinga kiri ekyasooka. Yobu n'aba n'endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya (14,000), n'eŋŋamira kakaaga (6,000), n'emigogo gy'ente lukumi (1,000), n'endogoyi enkazi lukumi (1,000).
13
Era yalina abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu.
14
Omuwala asooka n'amutuuma Yemmima, ow'okubiri n'amutuuma Keeziya, n'ow'okusatu n'amutuuma Kerenukappuki.
15
Mu nsi yonna tewali bakazi balungi okwenkana abawala ba Yobu. Kitaabwe n'abawa omugabo gw'obusika wamu ne bannyinaabwe.
16
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana (140), n'alaba batabani be, n'abazzukulu okutuuka ku bannakasatwe.
17
Awo Yobu n'afa nga mukadde, ng'awangadde emyaka mingi nnyo.
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42