bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 33
Job 33
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 34 →
1
Naye, Yobu, kaakano, wulira bye ngenda okwogera. Wuliriza ebigambo byange byonna.
2
Ka ntandike okwogera, Kanfukumule byonna byenjagala okwogera.
3
Ebigambo byange bye biraga nti ndi mwesimbu, Njogera bya mazima omutali bukuusa.
4
Omwoyo wa Katonda ye yantonda, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gwe gumpa obulamu.
5
Oba oyinza, nziraamu. Tereeza bulungi ensonga zo, oyimirire mu maaso gange.
6
Gwe nange mu maaso ga Katonda tufaanagana, Ffembi twabumbibwa mu ttaka.
7
N'olwekyo tonenya nakatono, Sijja kukuzitoowerera.
8
Mazima oyogedde nze nga mpulira, Nange mpulidde ebigambo byo ng'ogamba nti:
9
“Ndi mulongoofu, sirina kyenasobya, Siriiko musango, temuli kibi mu nze.
10
Naye Katonda alina kyeyekwasa, Ampita mulabe we.
11
Ateeka ebigere byange mu nvuba, Alaba amakubo gange gonna.”
12
Naye ka nkutegeeze ggwe Yobu, nti mu kino oli mukyamu. Katonda asingira ddala omuntu obukulu.
13
Lwaki omwemulugunyiza ng'ogamba nti: “Nga tanziramu bye mugamba?
14
Katonda ayogera emirundi mingi, Naye nga tewali muntu assa mwoyo ku bigambo bye.
15
Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu, Nga babongootera ku bitanda.
16
Awo Katonda w'aggulira amatu g'abantu, N'abategeeza byayagala wamu n'okubalabula.
17
Abaggye mu bikolwa byabwe ebibi, Era abaziyize okuba abamalala.
18
Abawonya okukka emagombe, N'abaggya mu kufa.
19
Omuntu okulumwa kumukangavvulira ku kitanda kye, Obulumi ne bujjula mu magumba ge.
20
Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa eby'okulya, N'ebyamuwoomeranga ng'atakyabyegomba.
21
Omubiri guggwaawo n'akogga. N'amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala.
22
Ddala asemberera omugo gw'entaana, N'abo kumuzikiriza nga bamulindiridde.
23
Naye bw'afuna omu ku bamalayika ba Katonda, Enkumi n'enkumi, Abategeeza abantu ebibagwanira okukola.
24
N'amukwatirwa ekisa n'agamba Katonda nti, Muwonye aleme okukka emagombe. Mmulabiddeyo omutango.
25
Omubiri gwe gulidda buggya ng'ogw'omwana omuto, Era addamu maanyi agobuvubuka bwe.
26
Olwo omuntu oyo asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa, N'ajja mu maaso ge nga musanyufu, Kubanga amuwonyeza okufa.
27
Ayimbira mu maaso g'abantu ng'agamba nti: Nnayonoona, ne nkola ebitasaana. Naye Katonda natambonereza.
28
Anunudde ne sikka magombe. Nja kwongera okuba omulamu.
29
Mazima ebyo byonna, Katonda abikolera abantu bulijjo.
30
Okubawonya amagombe, N'abawa essanyu olw'okuba abalamu.
31
Kaakano nno Yobu, wuliriza gye ŋŋamba. Sirika, ondeke njogere.
32
Naye oba nga olina eky'ogamba, Yogera, kubanga njagala okukakasa nti tolina musango.
33
Naye oba nga tokirina, sirika owulire bye ŋŋamba. Nkuyigirize eby'amagezi.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42