bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 15
Job 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 16 →
1
Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'agamba nti:
2
“Omuntu ow'amagezi taddamu na bigambo bitalina makulu, Tayogera bigambo biri nga mpewo buwewo?
3
Teri muntu mugezi awalaza mpaka nga gwe bw'okola, Ayogera ebigambo ebitayinza kuvaamu kalungi.
4
Ebigambo byo biyinza okuleetera abantu obutatya Katonda, Ne bibaziyiza n'okumusinza.
5
Kubanga by'oyogera biraga obutali butuukirivu bwo. By'oyogera byonna bya bulimba.
6
Akamwa ko ggwe ke kakusalira omusango okukusinga, so si nze. Ebigambo byo gwe bye bikusingisa omusango.
7
Ggwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ensozi tezinnabaawo?
8
Wali owuliddeko Katonda byateesa mu kyama? Gwe wekka alina amagezi?
9
Kiki ky'omanyi ffe kye tutamanyi? Biki by'otegeera ffe bye tutageera?
10
Abameze envi n'abakadde ennyo tuli nabo, Abasinga ennyo kitaawo obukadde.
11
Okubudaabuda kwa Katonda olowooza kutono, tekukumala, Oba ebigambo eby'obuwombeefu bye twogedde naawe?
12
Lwaki omutima gwo gukutunduga? Lwaki otunuuza busungu?
13
N'okusunguwala n'osunguwalira Katonda? N'oleka ebigambo ebiri bwe bityo okuva mu kamwa ko.
14
Omuntu yani okubeera omulongoofu? Omuntu azaalibwa omukazi ayinza okubeera omutuukirivu?
15
Olaba Katonda teyeesiga bamalayika be! N'eggulu si ddongoofu mu maaso ge.
16
Olwo kiri kitya eri omuntu omwonoonefu era omugwagwa, Omuntu anywa obutali butuukirivu ng'amazzi!
17
Kankubikkulire, mpuliriza, Nkubuulire bye ndabye.
18
Nakubuulira ab'amagezi bye boogera, Bye bajja ku bajjajjaabwe, bye batabakweka.
19
Abaaweebwa ensi eno bokka, Era tewali munnaggwanga wakati mu bo.
20
Omubi aba mu buyinike ennaku ze zonna, Omujoozi abonaabona emyaka gye gyonna.
21
Awulira amaloboozi ag'entiisa, Lwabeera mu mirembe, lwalumbibwa abanyazi.
22
Tasuubira kuva mu kizikiza, Era okuttibwa kw'alindirira.
23
Abungeeta nga anoonya eky'okulya, nga yeebuuza gy'anaakijja. Amanyi nti olunaku olwa kazigizigi lumutuuseeko.
24
Okweraliikirira n'obuyinike bimutiisa, Nga kabaka eyeeteeseteese okulwana bw'atiisa.
25
Kubanga agalulidde Katonda omukono gwe, Nga asomoza Katonda Omuyinza w'ebintu byonna.
26
Amufubutuka okumulumba, Agenda azuunza engabo ye ennene.
27
Nga yeenyumiriza olwo bugevvu obw'omu maaso ge, N'obunnene obw'ekiwato kye.
28
Era abeera mu bibuga ebidduuseemu abantu, Mu bifulukwa Ebisuliridde okuggwa.
29
Obugagga bwe bwa kaseera buseera, Naye yennyini taliwangaala.
30
Taavenga mu kizikiza, Aliba ng'amatabi agababuddwa omuliro, Era ng'ebimuli byagwo ebifumulwa embuyaga.
31
Bwe yeesiga ebitaliimu aba yeerimba, Kubanga era obutalimu yeeriba empeera ye.
32
Alikala mangu ng'ettabi, N'ataddamu kuggumiza.
33
Aliba ng'omuzabbibu ogukunkumula ebibala byagwo ebitannaba kwengera; Era ng'omuzeyituuni ogukunkumula ekimuli.
34
Kubanga abo abatatya Katonda banaabeeranga bagumba. Era omuliro gunaayokyanga amayumba ge baggya mu kulya enguzi.
35
Bakola ebibi ebiva mu kulowooza kwabwe, Omutima gwabwe gujjudde obukuusa.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42