bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 31
Job 31
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 32 →
1
Nnasalawo okuziyiza amaaso gange. Kale nnandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?
2
Katonda yampa mugabo ki oguva waggulu gy'ali? Nnafuna busika ki okuva ew'Omuyinza w'ebintu byonna mu ggulu?
3
Akabi tekajjira oyo atali mutuukirivu? N'okulaba ennaku tekujjira abo abakola eby'obujeemu?
4
Katonda talaba makubo gange? Naabala na buli kigere kye nsitula?
5
Oba nga nnatambulira mu bulimba, Oba nga ebigere byange nnabyanguyanga okubitwala mu kukuusakuusa.
6
Mpimibwe mu minzaani epima ekituufu, Katonda alyoke amanye nti siyonoonanga.
7
Oba nga nnakyama n'enva mu kkubo ettuufu, Omutima gwange oba nga gwali guwabye okugoberera amaaso gange, Oba okukozesa engalo zange ekibi okweretako ebbala.
8
Kale nze nsige, omulala abirye. Emmere ey'omu nnimiro yange ekuulibwe esuulwe.
9
Oba omutima gwange gwali gwegombye muk'omusajja, Ne nteegera ku mulyango gwa muliraanwa.
10
Kale mukazi wange afumbire omulala, Era abalala beegatte naye.
11
Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve. Kyandibadde kibi ekigwana okuleetebwa eri abalamuzi okukibonereza.
12
Kyandibadde muliro ogwokya ne guzikiriza, Ogwandiwemmense buli kyange kyonna.
13
Oba nga nali ngaanyi okuwuliriza ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange, Nga baneemulugunyiza.
14
Kale ndikola ntya, Katonda bw'alisituka? Era bw'alimbuuza, ndimuddamu ntya?
15
Eyantonda mu lubuto naye si ye yamutonda? Si ye omu eyatubumba ffembi mu lubuto?
16
Si ganaanga kuwa mwavu kye yeetaaga, Oba okumalawo essuubi lya nnamwandu.
17
Siryanga mmere yange nzekka, Nga siwaddeko atalina kitaawe.
18
Okuva mu buto bwange, nnalabiriranga mulekwa nga kitaawe, Sseekekanga kuyamba bannamwandu n'akatono.
19
Bwe nnalabanga omuntu afa olw'okubulwa eky'okwambala, Oba omwavu atalina kye yeebikka,
20
Nga muwa eky'okwebika, Ekikoleddwa mu byoya bya ndiga zange.
21
Oba nga nali ndyazaamaanyizza mulekwa, Nga nneesiga abalamuzi okunyamba.
22
Kale ekibegabega kyange kiweekukeko. N'omukono gwange gumenyeke eggumba.
23
Olwo kuba nga ntya okubonerezebwa Katonda, Nga siyinza kukola bintu biri ng'ebyo.
24
Si fuulanga zaabu okuba essuubi lyange, Era sigambanga zaabu ennungi nti, “ Ggwe bwesige bwange.”
25
Si teekanga ssanyu lyange mu by'obugagga bwange bungi, Wadde okwesiima olw'ebintu byange ebingi bye nnalina.
26
Nali ntunuulidde enjuba mu kwaka kwayo, Oba omwezi ogutambulira mu kumasamasa,
27
Omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama, Ne nnywegera ekibatu kyange okubisinza.
28
Na kino nakyo kyandibadde kibi ekigwana okuleetebwa eri abalamuzi okukibonereza. Kubanga nnandibadde nneegaanye Katonda ali waggulu.
29
Si sanyukiranga kuzikirira kw'oyo ankyaye, Oba okujaganya nga atuukiddwako akabi.
30
Ssaganya kamwa kange kwonoona, Nga nkolima, nti afe.
31
Ddi ababeeranga mu maka gange lwe baatabuuza nti: “Ani atakuse nnyama gyagabudde?”
32
Abatambuze tebasulanga mu luguudo, Naye twabaanirizanga mu nnyumba yange.
33
Si bikkanga ku kusobya kwange, Ng'abamu abakisa obutali butuukirivu bwabwe.
34
Olw'okutya ekibiina ky'abantu, N'okunyoomebwa ab'ekika kyange. N'okusirika ne nsirika ne siva mu nnyumba.
35
Kale singa waliwo awulira bye njogera! Ebigambo bye nkakasa, Omuyinza w'ebintu byonna anziremu. Nnandyagadde oyo ampawaabidde ampe omusango mu buwandiike.
36
Mazima nandikisitulidde ku kibegabega kyange kirabibwe, Nnandikyetikkidde ng'engule ku mutwe gwange.
37
Nnandimubuulidde okutambula kwange kwonna, Nnandimusemberedde sirina kutya kwonna.
38
Singa n'abba bubbi ettaka, Lya ndikaabye okulidizza nannyiniryo.
39
Oba nga nali ndidde ebibala byamu nga sisasudde, Oba ne ndeka enjala ette bannannyini ttaka,
40
Omwennyango gukule mu kifo ky'eŋŋaano, Ne ssere mu kifo kya sayiri. Ebigambo bya Yobu bikomye wano.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42