bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 5
Job 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 6 →
1
“Koowoola nno, ani anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw'onookyukira akuyambe?
2
Kubanga okweraliikirira kutta omusirusiru, N'obuggya butta atalina magezi.
3
Nnalaba omusirusiru nga ye nyweza, Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu.
4
Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, Era tewaba abawonya.
5
Abayala balya byakungula, Baggyayo ne biri eyo mu maggwa, Ab'omululu beegomba obugagga bwe.
6
Kubanga obuyinike tebuva mu nfuufu, Ne nnaku teva mu ttaka;
7
Naye abantu bazaalirwa kulaba obuyinike, Ng'ensasi bwe zimansukira mu bbanga.
8
Singa nze ggwe, nnandinoonyeza Katonda, Era oyo gwe nandyanjulidde ensonga yange:
9
Akola ebikulu ebitategeerekeka, N'eby'amagero ebitabalika:
10
Atonnyesa enkuba ku nsi, N'afukirira amazzi ku nnimiro:
11
Agulumiza abeetoowaza, N'abo abakungubaga n'abawa essanyu.
12
Affaffaganya enkwe ez'abakalabakalaba; Ne batayinza kutuukiriza bye bategeka.
13
Akwasa abagezi mu bugezigezi bwabwe. Era akomya mangu okuteesa kwa b'enkwe.
14
Baba n'ekizikiza emisana, Era bawammanta mu ttuntu nga kiro.
15
Katonda awonya abanaku okuttibwa, Alokola abali mu bwetaavu okuva mukunyigirizibwa ab'amaanyi.
16
Olwo abaavu ne baba n'essuubi, Ababi ne babunira.
17
Laba, aweereddwa omukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kukangavvulwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna.
18
Kubanga ye alumya, era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze ze ziwonya.
19
Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga; Weewaawo, ku gw'omusanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako.
20
Mu njala anaakuwonyanga okufa. Ne mu ntalo anaakuwonyanga okuttibwa ekitala.
21
Anaakuwonyanga abakuwaayiriza. Era tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga.
22
Onoosekereranga okuzikirira n'enjala; Era tootyenga nsolo z'omu ttale.
23
Kubanga mu nnimiro yo temuubeenga mayinja; N'ensolo ez'omu nsiko teziikulumbenga.
24
Oneekakasanga nti mu nnyumba oli mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo nga tekuliiko ebuze.
25
Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo lya kwala. Lyeyongere ng'omuddo ogw'oku ttale.
26
Olituuka mu ntaana yo ng'owangadde emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kireetebwa okuwuulwa.
27
Ebyo twabyekenneenya, ne tulaba nga bya mazima. Biwulire, obimanye olyoke obeere bulungi.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42