bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 38
Job 38
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 39 →
1
Awo Mukama n'alyoka addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ey'amaanyi, n'agamba nti:
2
Ani oyo abuuza enteekateeka zange, Ng'ayogera ebitaliimu kumanya?
3
Kale nno weesibe ekimyu ng'omusajja, Nkubuuze, naawe onziremu.
4
Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy'ensi? Mbuulira, oba olina okutegeera.
5
Ani yasalawo obunene byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagipimako omuguwa?
6
Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki? Oba ani yasimba ejjinja lyayo ery'oku nsonda?
7
Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu, N'abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw'essanyu?
8
Oba ani eyasiba ennyanja n'enzigi, Bwe yawaguza ng'ekiva mu lubuto?
9
Nze nnafuula ekire okuba ekyambalo kyayo, N'ekizikiza ekikutte okuba ebiwero eby'okugibikka.
10
Nnagiteerawo ensalo yaayo, Nnenteekawo enzigi n'ebisiba.
11
Nnenjigamba nti, Wano w'okomanga so tosukkangawo Era wano amayengo go ag'amalala we ganaaziyirizibwanga.
12
Bukya obaawo, Wali olagidde olunaku okukya, n'emmambya okujja?
13
Ekitangaala kibune buli kanyomero ka nsi, Kigobewo ababi beekweke?
14
Ensi n'eryoka evaayo n'erabika, ng'eri ng'ekyambalo ekya langi ennyingi.
15
N'ababi ekitangaala kyabwe kibaggyibwako, N'ebaziyizibwa okukola eby'obukambwe.
16
Wali otuuse ebuziba, awali nsulo ez'ennyanja? Oba wali otambudde wansi eyo ku ntobo y'ennyanja?
17
Waliwo eyali akulaze enzigi z'emagombe, Eziyingira mu kizikiza ebeera abafu?
18
Wali otegedde ensi bw'eri obugazi? Nziramu oba nga byonna obimanyi.
19
Omanyi ekitangaala gye kiva, N'ekizikiza bwe kivaawo gye kiraga?
20
Ggwe oyinza okubiggyayo gye bibeera? Era otegeere amakubo agatuusa mu nnyumba yaabyo?
21
Omanyi, kubanga wali muzaale mu bbanga eryo! Nga mingi emyaka gy'owangadde!
22
Wali oyingidde mu mawanika g'omuzira? Oba wali olabye amawanika g'amayinja g'omuzira?
23
Ge nnaterekera ebiro eby'okulabiramu ennaku, Olunaku olw'olutalo n'obulwa?
24
Kkubo ki omusana mwe gwawukanira, Oba embuyaga z'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi?
25
Ani yatema ku ggulu emikutu enkuba mw'eyita etonnye? Oba ekkubo ly'okubwatuka kwa laddu?
26
Ani atonnyesa enkuba mu bitundu omutali bantu? Ne mu ddungu omutali muntu n'omu.
27
Okufukirira ensi eyazika enkalu erekeddwa awo, emeremu omuddo omuto?
28
Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag'omusulo?
29
Mu lubuto lw'ani omuva omuzira? N'omusulo ogutonnyerera okuva mu ggulu, ani aguzaala?
30
Amazzi gafuuka amakalubo ng'ejjinja, Ne gakwata kungulu ku nnyanja.
31
Oyinza okusiba ekikuukuulu kya Kakaaga, Oba okusumulula olukoba lw'Entungalugoye?
32
Oyinza okufulumya emmunyeenye mu ntuuko zaazo? Oba oyinza okuluŋŋamya Nabaliyo n'abaana baayo?
33
Omanyi ebiragiro ebifuga mu ggulu? Oyinza okubikozesa okufuga ne mu nsi?
34
Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo okulagira ebire, Bikubunduggulireko amazzi?
35
Oyinza okuyita ebimyanso by'eggulu, Ne bikuyitaba nti, Ffe tuutuno?
36
Ani eyateeka mu bire amagezi, Ag'okutonnyesa enkuba?
37
Ani ayinza okukozesa amagezi ge okubala ebire? Oba ani ayinza okuttulula amaliba g'omu ggulu ago,
38
Enfuufu bw'ekulukuta n'efuuka ettosi, ebitoomi ne bye kwata.
39
Onooyiggira empologoma enkazi omuyiggo? Oba onooliisa empologoma ento ozikkuse,
40
Bwe zeebaka mu mpuku zaazo, Oba bwe zibwama mu bisaka okuteega?
41
Ani aliisa bannamuŋŋoona emmere, Abaana baabyo bwe bakaabira Katonda, Ne batambulatambula okunoonya emmere?
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 39 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42