bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Job 34
Job 34
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 35 →
1
Awo Eriku n'agamba nti:
2
Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab'amagezi. Era mu mpulirize, mmwe abalina okutegeera.
3
Kubanga okutu kuwulira ne kwawula ebituufu ku bitali bituufu, Nga n'olulimi bwe lwawula emmere ewooma n'etewooma.
4
Twawulemu ekituufu. Twesalirewo fekka na fekka ekirungi bwe kiri.
5
Kubanga Yobu agambye nti: “Nze siriiko musango. Era nti Katonda agaanyi okunsalira obutuufu.
6
Newakubadde ndi mutuufu, mpitibwa mulimba. Nfumitiddwa nfe bufi, newakubadde nga ssiriiko musango.
7
Yobu muntu wa ngeri ki? Anywa obunyoomi nga bw'anywa amazzi.
8
Atambulira awamu n'abakola ebitali bya butuukirivu, Era atambulira awamu n'abasajja ababi.
9
Kubanga agambye nti, ‘Omuntu tekiriiko kye kimugasa okugoberera atonda.’
10
Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera. Tekiyinzika n'akatono Katonda okukola obubi. Era Omuyinza w'ebintu byonna, okukola ebitali bya butuukirivu.
11
Kubanga alisasula buli muntu empeera, nga bwe yakola. Era nga buli muntu amakubo ge bwe gali.
12
Mazima, Katonda taakolenga kibi, Era Omuyinza w'ebintu byonna taasalirizenga nsonga.
13
Ani eyamuteresa ensi okugikuuma? Oba ani eyateekateeka buli kintu nga bwe kiri?
14
Singa Katonda asalawo okweddiza omwoyo gwe, N'omukka, ebiwa obulamu,
15
Byonna ebirina omubiri byandizikiridde, Abantu ne badda mu nfuufu.
16
Kale oba olina okutegeera, wulira kino: Wuliriza ebigambo byange.
17
Akyawa eby'amazima ayinza okufuga? Era onoosalira oyo omutuukirivu era ow'amaanyi omusango okumusinga?
18
Ani agamba Kabaka, nti, ‘Togasa,’ ‘Togasa,’ Oba abakungu nti, ‘Mmwe muli babi?’
19
Oyo teeyeekubira ku ludda lw'abafuzi, Ayisa kyenkanyi abagagga n'abaavu. Kubanga bonna ye ya batonda.
20
Bafa mu kaseera buseera, mu matumbi g'obudde. Abantu banyeenyezebwa ne babulawo. N'ab'amaanyi baggibwawo nga tewali abakuttenako.
21
Kubanga amaaso ge gatunuulira amakubo ag'omuntu, Era alaba okutambula kwe kwonna.
22
Tewali kisiikirize wadde ekizikiza ekikutte, Abakola ebitali bya butuukirivu we bayinza okwekweka.
23
Katonda teyeetaaga kumala kulaalika muntu, Atuuke mu maaso ge okusalirwa omusango.
24
Teyeetaaga kumala kubuuliriza alyoke amenyeewo abasajja ab'amaanyi, N'okussaawo abalala mu kifo kyabwe.
25
Nga bw'amanyi bye bakola, Era abavuunika kiro n'abazikiriza.
26
Abakubira mu maaso g'abantu, Ng'abalanga ebibi byabwe.
27
Kubanga balekayo okumugoberera, Tebassaayo mwoyo ku biragiro bye.
28
N'okutuusa ne batuusa gy'ali okukaaba kw'omwavu, N'awulira okukaaba kw'abo ababonyaabonyezebwa.
29
Bw'asalawo obutabaako ky'akola, kale ani ayinza okumusalira omusango okumusinga? Bw'akweka amaaso ge, kale ani ayinza okumulaba? Ne bwe liba ggwanga oba nga muntu.
30
Omusajja atatya Katonda amuziyiza okufuga, Waleme kubaawo asuula bantu mu katego.
31
Waliwo eyali agambye Katonda, nti: ‘Mbonerezebbwa, sikyaddamu kusobya.
32
Njigiriza Kye ssiraba. Oba nga nnakola ekibi sikyaddamu kukikola.’
33
Nga bwowakanya Katonda ye ky'akola, olowooza ayinza okukola gwe ky'oyagala? Awo ggwe olina okusalawo, sso si nze. Kale yogera ekyo ky'omanyi.
34
Abantu abalina okutegeera bajja kuŋŋamba, Na buli muntu ow'amagezi ampulira, anaŋŋamba nti,
35
‘Yobu ayogeza butamanya, N'ebyayogera temuli magezi.’
36
Yobu awozesebwe mu bujjuvu, Kubanga ayanukula ng'abantu ababi.
37
Kubanga ku bibi bye, ayongerako obujeemu. Anyooma Katonda ng'asinziira wakati mu ffe, n'ayogera obutamala okuwakanya Katonda.”
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42