bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 11
Genesis 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 12 →
1
Abantu ab'omu nsi yonna baalina olulimi lumu n'enjogera emu.
2
Awo, bwe baali batambula nga bava ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi ya Sinali; ne batuula omwo.
3
Ne bagambagana nti, “Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala.” Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebbumba mu kifo ky'ennoni.
4
Ne bagamba nti, “Kale nno, twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka mu ggulu, twekolere erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna.”
5
Mukama n'akka okulaba ekibuga n'omunaala, abaana b'abantu bye bazimba.
6
Mukama n'ayogera nti, “Laba, abantu bano lye ggwanga limu, bonna balina olulimi lumu; kino kye baagala era kye batandise okukola tekijja kubalema.
7
Kale nno, tukke, tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeragana.”
8
Bw'atyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna; ne balekera awo okuzimba ekibuga.
9
Erinnya ly'ekibuga kye lyava liyitibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna; n'okuva awo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna.
10
Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu bwe yaweza emyaka kikumi (100), amataba nga gamaze emyaka ebiri (2) okubaawo, n'azaala Alupakusaadi.
11
Seemu bwe yamala okuzaala Alupakusaadi, n'awangaala emyaka emirala bitaano (500), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
12
Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano (35), n'azaala Seera;
13
Bwe yamala okuzaala Seera, n'awangaala emyaka emirala bina mu esatu (403), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14
Seera bwe yaweza emyaka asatu (30) n'azaala Eberi.
15
Seera bwe yamala okuzaala Eberi, n'awangaala emyaka emirala bina mu esatu (403), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
16
Eberi bwe yaweza emyaka asatu mu ena (34) n'azaala Peregi.
17
Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n'awangaala emyaka emirala bina mu asatu (430), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
18
Peregi bwe yaweza emyaka asatu (30) n'azaala Leewo.
19
Peregi bwe yamala okuzaala Leewo, n'awangaala emyaka emirala bibiri mu mwenda (209), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
20
Leewo bwe yaweza emyaka asatu mu ebiri (32), n'azaala Serugi.
21
Leewo bwe yamala okuzaala Serugi n'awangaala emyaka emirala bibiri mu musanvu (207), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
22
Serugi bwe yaweza emyaka asatu (30), n'azaala Nakoli.
23
Serugi bwe yamala okuzaala Nakoli n'awangaala emyaka emirala bibiri (200), era mwe yazaalira abaana abalala, ab'obulenzi n'ab'obuwala.
24
Nakoli bwe yaweza emyaka abiri mu mwenda (29) n'azaala Teera.
25
Nakoli bwe yamala okuzaala Teera n'awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda (119), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
26
Teera bwe yaweza emyaka nsanvu (70), n'azaala Ibulaamu, Nakoli ne Kalani.
27
Kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n'azaala Lutti.
28
Kalani n'afiira mu kibuga Uli, mu nsi y'Abakaludaaya mwe yazaalirwa nga kitaawe akyali mulamu.
29
Ibulaamu n'awasa Salaayi, ne Nakoli n'awasa Mirika, muwala wa Kalani, era nga ye kitaawe wa Isika.
30
Salaayi yali mugumba; teyalina mwana.
31
Teera n'atwala mutabani we Ibulaamu, ne Lutti, muzzukulu we, omwana wa Kalani, ne Salaayi muka mwana we Ibulaamu; ne basenguka okuva mu kibuga Uli, mu ensi ey'Abakaludaaya, ne bagenda mu nsi eya Kanani, ne basenga e Kalani.
32
Teera n'afiira mu Kalani, ng'awangadde emyaka bibiri mu etaano (205).
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50