bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 43
Genesis 43
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 44 →
1
Enjala n'enyinnyittira nnyo mu nsi.
2
Awo olwatuuka, bwe baamala okulya eŋŋaano yonna gye baggya mu Misiri n'eggwaawo, kitaabwe n'abagamba nti, “Muddeyo nate, mutugulire akamere.”
3
Yuda n'amugamba nti, “Omusajja yatulabulira ddala ng'ayogera nti, ‘Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali wamu nammwe.’
4
Bw'onokkiriza muganda waffe okugenda naffe, tunaagenda ne tukugulira emmere;
5
naye bw'otomukkirize tetujja kugenda; kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali nammwe.’ ”
6
Isiraeri n'ayogera nti, “Kiki ekyabankoza obubi obwenkanidde awo okubuulira omusajja nti mulina ow'oluganda omulala?”
7
Ne baddamu nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako, ne ku baganda baffe, ng'agamba nti, ‘Kitammwe akyali mulamu? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Twamuddamu ebyo bye yatubuuza. Twanditegedde tutya nti anaatugamba nti, ‘Muleete muganda wammwe?’ ”
8
Yuda n'agamba Isiraeri kitaawe nti, “Omulenzi mukwase nze, naffe tunaasituka ne tugenda; tulyoke tube abalamu ffe, naawe, era n'abaana baffe abato, enjala ereme okututta.
9
Nze nneeyamye okumukuuma; olimubuuza nze, bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna;
10
kuba singa tetuludde, mazima kaakano twandibadde nga tukomyewo omulundi ogwokubiri.”
11
Awo Isiraeri kitaabwe n'abagamba nti, “Oba nga bwe kiri bwe kityo, mukole bwe muti: mutwale mu nsawo zammwe ebirabo bye munaawa omusajja. Mumutwalire ku bintu eby'omu nsi eno ebisinga obulungi: ku nvumbo, ku mubisi gw'enjuki, omugavu, n'obubaane, ebinyebwa n'endoozi.
12
Omuwendo gwa effeeza gye mwasooka okutwala mugikubiseemu emirundi ebiri, mwongereko n'effeeza eyakomezebwawo ku bumwa bw'ensawo zammwe, oba oli awo baagikomyawo mu butanwa.
13
Era mutwale ne muganda wammwe, musituke, muddeyo eri omusajja.
14
Katonda Omuyinza w'ebintu byonna abawe okusaasirwa mu maaso g'omusajja, abasumululire muganda wammwe omulala ne Benyamini. Nange bwe ndifiirwa abaana bange, ndifiirwa.”
15
Abasajja ne batwala ebirabo n'effeeza ekubisiddwamu emirundi ebiri awamu Benyamini; ne basituka ne bagenda e Misiri, ne beeyanjula mu maaso ga Yusufu.
16
Yusufu bwe yalaba Benyamini ng'ali wamu nabo n'agamba omuwanika w'ennyumba ye nti, “Twala abasajja bano mu nnyumba yange, otte ensolo; kubanga bajja kuliira wamu nange eky'emisana.”
17
Omusajja n'akola nga Yusufu bwe yamulagira; n'abatwala mu nnyumba ya Yusufu.
18
Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti, “Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; alyoke atuvunaane, atuwamatukireko, atunyageko endogoyi zaffe, atufuule abaddu be.”
19
Ne basemberera omuwanika w'ennyumba ya Yusufu, ne boogerera naye nga bali ku mulyango gw'ennyumba,
20
ne bagamba nti, “Ayi mukama waffe twajja wano olubereberye okugula emmere;
21
awo bwe twatuuka mu kifo wetwasuula nga tuddayo ewaffe, netusumulula ensawo zaffe, netusanga effeeza eya buli omu ng'eri ku mumwa gw'ensawo ye; era tugikomezzaawo.
22
Era tuleese n'effeeza endala okugula emmere; naye tetumanyi ani yateeka effeeza mu nsawo zaffe.”
23
Omuwanika n'abagamba nti, “Mubeere n'emirembe, temutya; Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe; naye nze nnaweebwa effeeza yammwe gye mwasasula.” Awo n'abasumululira Simyoni.
24
Omuwanika n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu, n'abawa amazzi, ne banaaba ebigere; n'awa n'endogoyi zaabwe eby'okulya.
25
Ne bateekateeka ebirabo eby'okuwa Yusufu ng'azze gyebali mu ttuntu, kubanga baali babagambye nti banaaliira eyo wamu naye ekyemisana.
26
Awo Yusufu bwe yakomawo eka, abasajja ne bamuleetera ebirabo bye baali nabyo mu nnyumba, ne bamuvuunamira.
27
N'ababuuza bwe baali, era n'ababuuza nti, “Kitammwe omukadde gwe mwayogerako akyali mulamu?”
28
Ne baddamu nti, “Omuddu wo kitaffe gyali, akyali mulamu.” Ne bakutama, ne bamuvuunamira.
29
N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti, “Oyo ye muto wammwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange!”
30
Yusufu n'avaawo mangu, kubanga emmeeme yamutenguka olwa muganda we; n'anoonya w'anaakaabira amaziga. N'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo.
31
N'anaaba mu maaso, n'afuluma; n'azibiikiriza n'agamba nti, “Mujjule emmere.”
32
Yusufu ne bamusoosootolera yekka, ne baganda be ne babasoosootolera bokka, n'Abamisiri abaalya ku kijjulo ekyo nabo ne babasoosootolera bokka, kubanga Abamisiri tebaliira wamu na Baebbulaniya.
33
Ab'oluganda ne batuuzibwa nga batunuulidde Yusufu, nga bwe baddiŋŋanako mu kuzaalibwa, okuva ku asinga obukulu, okutuuka ku asembayo obuto. Ne batunuliganako nga beewuunya.
34
Yusufu n'ababegera ebitole ku mmere ye; naye ekitole kya Benyamini kye kyasinga ebya banne byonna emirundi etaano. Ne banywa, ne basanyukira wamu ne Yusufu.
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 44 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50