bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 4
Genesis 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 5 →
1
Adamu ne yeegatta ne Kaawa mukazi we; Kaawa n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti, “Mpeereddwa omusajja okuva eri Mukama.”
2
Era nate n'azaala muganda we Abeeri. Abeeri n'aba mulunzi wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi.
3
Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'aleeta ku bibala bye yakungula okubiwaayo eri Katonda.
4
Abeeri naye n'aleeta ku baana b'endiga ze ababereberye, n'azitta n'awaayo ebitundu byazo ebisinga obusava. Mukama n'asiima Abeeri ne ky'awaddeyo:
5
naye Mukama n'atasiima Kayini ne ky'awaddeyo. Kayini n'asunguwala nnyo, n'atunula bubi.
6
Mukama n'agamba Kayini nti, “Kiki ekikusunguwaza? Era kiki ekikutunuza obubi bw'otyo?
7
Singa okoze ekintu ekirungi, tewandisiimiddwa? Naye kubanga okoze bubi, ekibi kiri ku luggi lwo; kyagala okukufuga, naye ggwe oteekwa okukiwangula.”
8
Kayini n'ayogera ne Abeeri muganda we n'amugamba nti, “Tugende mu nnimiro.” Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abeeri muganda we n'amutta.
9
Mukama n'abuuza Kayini nti, “Aluwa Abeeri muganda wo?” N'addamu nti, “Simanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”
10
Mukama n'amugamba nti, “Okoze ki? Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.
11
Kale kaakano okolimiddwa, kubanga osse mugandawo, era ensi eyasamizza akamwa kaayo n'ennywa omusaayi gwe.
12
Okuva kaakano bw'on'olimanga ettaka, teribazenga mmere, era onoobanga mmomboze era omutambuze mu nsi.”
13
Kayini n'agamba Mukama nti, “Ekibonerezo ky'ompadde kisusse obunene, siyinza kukigumira.
14
Laba, ongobye mu maaso go, sikyalina bukuumi bwo, nfuuse mmomboze era omutambuze mu nsi; na buli anandabanga ananzitanga bussi.”
15
Mukama n'amugamba nti, “Buli alitta Kayini aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero, buli anaamulabanga alemenga okumutta.
16
Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi eyitibwa Nodi, mu buvanjuba bwa Edeni.
17
Kayini ne yeegatta ne mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka. Kayini n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we.
18
Enoka n'azaala Iradi; Iradi n'azaala Mekuyaeri, Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri, Mesusaeri n'azaala Lameka.
19
Lameka n'awasa abakazi babiri; owolubereberye erinnya lye Ada, n'owokubiri erinnya lye Zira.
20
Ada n'azaala Yabali; oyo ye jjajja w'abalunzi ababeera mu weema.
21
Muganda we ye Yubali; oyo ye jjajja w'abo bonna abakuba ennanga n'abafuuyi b'endere.
22
Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma; ne mwannyina Tubalukayini ye Naama.
23
Lameka n'agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange; Kubanga n'atta omusajja kubanga yanfumita nze, Era omuvubuka kubanga yambetenta nze.
24
Oba nga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”
25
Adamu ne yeegatta ne mukazi we nate; n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Seezi; eritegeeza nti, “Katonda ampadde omwana omulala okudda mu kifo kya Abeeri, Kayini gwe yatta.”
26
Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi; mu kiseera ekyo abantu mwe batandikira okukoowoola erinnya lya Mukama.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50