bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 49
Genesis 49
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 50 →
1
Yakobo n'ayita batabani be, n'ayogera nti, “Mukuŋŋaane mbategeeze ebiribatuukako gye bujja.
2
“Mukuŋŋaane, muwulire, mmwe batabani ba Yakobo; Muwulire Isiraeri kitammwe.
3
Lewubeeni, ggwe mwana wange omubereberye, ow'obuvubuka bwange, era amaanyi gange mwe gaasookera; Asinga amalala n'okwekulumbaza
4
Atafugika ng'amazzi agawaguzza; toliba mukulu; Kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo; N'okigwagwawaza, Weebaka mu buliri bwange.
5
Simyoni ne Leevi ba luganda; Ebitala byabwe bya kulwanyisa bya maanyi.
6
Ggwe emmeeme yange, tojjanga mu lukiiko lwabwe; Ggwe ekitiibwa kyange, teweegattanga n'ekibiina kyabwe; Kubanga olw'obusungu bwabwe batta omusajja, N'olw'eddalu lyabwe baatema ente olunywa.
7
Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; N'obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima; Ndibaawula mu Yakobo, Ndibasaasaanya mu Isiraeri.
8
Yuda, ggwe baganda bo banaakutenderezanga; Omukono gwo gunaabanga ku bulago bw'abalabe bo; Abaana bakitaawo banaakuvuunamiranga.
9
Yuda, olinga omwana gw'empologoma; Okomyewo mwana wange, ng'ova okuyigga. Yakutama, yabwama ng'empologoma ensajja, Oba ng'empologoma enkazi; ani anaagisaggula?
10
Omuggo ogw'obwakabaka teguveenga mu Yuda, Era bazzukulu be banaafuganga Okutuusa Siiro lw'alijja, Era oyo abantu gwe banaawuliranga.
11
Alisiba omwana w'ensolo ye ku muzabbibu, N'omwana w'endogoyi ye ku muzabbibu ogusinga obulungi; Ayoza ebyambalo bye mu mwenge omumyufu ogw'ezzabbibu;
12
Amaaso ge ganaamyukanga n'omwenge, N'amannyo ge ganaatukulanga n'amata.
13
Zebbulooni anaatuulanga ku lubalama lw'ennyanja; Anaabanga omwalo ogw'amaato; N'ensalo ye eneebanga ku Sidoni.
14
Isakaali ye ndogoyi erina amaanyi, Egalamira awali ebisibo by'endiga:
15
N'alaba okuwummula nga kulungi, N'ensi nga ya kwesiima; N'akutamya ekibegabega kye okwetikka, N'afuuka omuddu akakibwa okukola emirimu.
16
Ddaani, ng'ekimu ku bika bya Isiraeri, anaasaliranga abantu be emisango,
17
Ddaani anaabanga omusota mu luguudo, Embalasaasa mu kkubo, Eruma embalaasi ebinuulo, agyebagadde n'awanukako n'agwa.
18
Nindiridde obulokozi bwo, ayi Mukama.
19
Gaadi, ekibiina kirimunyigiriza; Naye alinyigiriza ekisinziiro kyabwe.
20
Ettaka lya Aseri linaabanga ggimu eribaza emmere. Anaaleetanga enva ennungi eza kabaka.
21
Nafutaali ye mpeewo etaayaaya ezaala abaana bayo abalungi.
22
Yusufu gwe muti ogubala ennyo. Oguli okumpi n'ensulo y'amazzi; Amatabi gaagwo gaagaagalidde waggulu w'ekisenge.
23
Abalasa obusaale baamunakuwaza nnyo, Baamulasa, baamuyigganya;
24
Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi, N'emikono gye ne giweebwa amaanyi, agava eri ow'Obuyinza Katonda wa Yakobo Omusumba era olwazi Isiraeri.
25
Ye Katonda wa kitaawo, anaakubeeranga, Ye Muyinza w'ebintu byonna, anaakuwanga omukisa, Omukisa oguva mu ggulu waggulu, N'omukisa oguva wansi mu nnyanja, N'omukisa ogw'okuzaala n'okuyonsa
26
Omukisa gwa kitaawo Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajjange Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero ey'ensozi ezitaliggwaawo; Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu Ne ku bwenyi bw'oyo eyayawulibwa okuva ku baganda be.
27
Benyamini gwe musege ogunyaga; Enkya anaalyanga omuyiggo, Era akawungeezi anaagabanga omunyago.”
28
Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri (12); n'ebigambo kitaabwe bye yabagamba ng'asabira buli omu kubo omukisa ogwamusaanira.
29
Awo Yakobo n'akuutira abaana be, n'abagamba nti, “Bwe ndifa muntwalanga ku butaka, ne mu nziika awali bajjajjange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,
30
eri e Makupeera, mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro, okuba obutaka obw'okuziikangamu.
31
Eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya.
32
Ennimiro n'empuku egirimu, byagulibwa ku baana ba Keesi.”
33
Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'agalamira ku kitanda kye, n'assa omukka gwe ogw'enkomerero. N'atwalibwa eri abantu be.
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 50 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50