bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 22
Genesis 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 23 →
1
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'ageza Ibulayimu, n'amugamba nti, “Ibulayimu;” n'addamu nti, “Nze nzuuno.”
2
N'amugamba nti, “Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako.”
3
Ibulayimu n'agolokoka enkya ku makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako.
4
Ku lunaku olwokusatu Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'alengera ekifo.
5
Ibulayimu n'agamba abavubuka be nti, “Mubeere mmwe wano n'endogoyi, nze n'omulenzi tugenda eri tusinze, n'oluvannyuma tunadda gye muli.”
6
Ibulayimu n'addira enku ez'okwokya ekiweebwayo n'azitikka Isaaka omwana we, ye n'atwala omuliro n'akambe; bombi ne bagenda.
7
Isaaka n'ayita Ibulayimu, kitaawe nti, “Kitange!” N'addamu nti, “Nze nzuuno, mwana wange.” Isaaka n'amubuuza nti, “Laba, omuliro n'enku biibino; naye omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?”
8
Ibulayimu n'amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa.” Ne beyongerayo bombi.
9
Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimba ekyoto, n'atindikirako enku, n'alyoka asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku nku eziri ku kyoto.
10
Ibulayimu n'agolola omukono gwe, n'akwata akambe okutta omwana we.
11
Naye malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, ng'ayogera nti, “Ibulayimu, Ibulayimu;” n'ayogera nti, “Nze nzuuno.”
12
N'agamba nti, “Totta mulenzi, so tomukolako kabi; kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.”
13
Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge n'amagamaga, n'alaba emabega we endiga ensajja ng'amayembe gaayo gawagamidde mu kisaka.
14
Ibulayimu n'atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire; nga bwe kyogerwa ne leero ku lusozi luno nti, “Mukama agaba.”
15
Awo malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng'ayima mu ggulu,
16
n'ayogera nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ndayira mu linnya lyange, olw'okubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo omu yekka;
17
ddala ndikuwa omukisa, era ndikuwa ezzadde ddene, liriba ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era ezzadde lyo liriwangula abalabe baabwe.
18
era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.”
19
Awo Ibulayimu n'addayo eri abavubuka be, ne basituka ne bagendera wamu bonna e Beeruseba; Ibulayimu n'abeeranga eyo.
20
Oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Mirika yazaalira muganda wo Nakoli abaana:
21
Uzi ye mubereberye, ne kuddako Buzi, ne Kemweri, kitaawe wa Alamu;
22
Kesedi, Kaazo, Pirudaasi, Yidulaafu, ne Bessweri.”
23
Bessweri n'azaala Lebbeeka; abo be baana omunaana Mirika be yazaalira Nakoli, muganda wa Ibulayimu.
24
Lewuma, omuzaana wa Nakoli, naye n'azaala: Teba, Gakamu, Takasi, ne Maaka.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50