bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 25
Genesis 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 26 →
1
Awo Ibulayimu n'awasa omukazi omulala, erinnya lye Ketula.
2
N'amuzaalira Zimulaani, Yokusaani, Medani, Midiyaani, Isubaki, ne Suwa.
3
Yokusaani n'azaala Seeba, ne Dedani. N'abaana ba Dedani abasajja baali Asulimu, Letusimu, ne Lewumimu.
4
N'abaana ba Midiyaani abasajja baali: Efa, Eferi, Kanoki, Abida, ne Eruda. Abo bonna bazzukulu ba Ketula.
5
Ibulayimu n'awa Isaaka byonna bye yalina.
6
Naye abaana be abalenzi abalala n'abawa ebirabo. N'abasindika okuva awali omwana we Isaaka, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende mu nsi ey'obuvanjuba bwa Kanani.
7
Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano (175).
8
Ibulayimu n'afa nga mukadde nnyo, n'aziikibwa ku butaka bwe.
9
Isaaka ne Isimaeri batabani be ne bamuziika mu mpuku eri e Makupeera, mu lusuku lwa Efulooni, omwana wa Zokali Omukiiti, olw'olekera Mamule;
10
olusuku olwo abaana ba Keesi lwe baaguza Ibulayimu okuziikamu Saala mukazi we; era naye mwe baamuziika.
11
Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga e Beerirakairoi.
12
Abaana ba Isimaeri, omwana wa Ibulayimu, Agali Omumisiri, omuzaana wa Saala gwe yazaalira Ibulayimu be bano nga bwe baddiŋŋanwako:
13
omubereberye we ye Nebayoosi, ne kuddako Kedali, Adubeeri, Mibusamu,
14
Misuma, Duma, Masa;
15
Kadadi, Teema, Yetuli, Nafisi, ne Kedema.
16
Abo be baana ba Isimaeri, bajjajja b'ebika ekkumi n'ebibiri, era amannya gaabwe gaatuumibwa ebyalo byabwe, n'ebifo mwe baasimba eweema zaabwe.
17
Isimaeri n'afa ng'awangadde emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137); n'aziikibwa awali abantu be.
18
Abaana ba Isimaeri ne batuula okuva e Kavira okutuuka e Ssuuli, okwolekera Misiri, ng'ogenda e Bwasuli; nga beesudde ku baana ba Ibulayimu abalala.
19
Bano be baana ba Isaaka, omwana wa Ibulayimu.
20
Isaaka yali awezezza emyaka ana (40) bwe yawasa Lebbeeka, omwana wa Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu. Labbaani ye yali mwannyina Lebbeeka.
21
Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto.
22
Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti, “Bwe kiri bwe kityo kyenva mbeera omulamu kiki?” N'agenda okubuuza Mukama.
23
Mukama n'amugamba nti, “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo, N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto.”
24
Awo ennaku ze bwe zaatuukirira okuzaala, laba ne baba abalongo mu lubuto lwe.
25
N'omubereberye n'avaamu nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ekyambalo eky'ebyoya; ne bamutuuma erinnya lye Esawu.
26
Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo; era Isaaka yali awezezza emyaka nkaaga (60), mukazi we bwe yabazaala.
27
Abalenzi ne bakula, Esawu n'abanga omuyizzi ow'amagezi, omusajja ow'omu nsiko; ne Yakobo yali musajja muteefu, eyatuulanga mu weema.
28
Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe; ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo.
29
Yakobo n'afumba omugoyo; Esawu n'ayingira ng'avudde mu nsiko, ng'akooye nga talina maanyi:
30
Esawu n'agamba Yakobo nti, “Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi.” Kyebaava bamuyita Edomu.
31
Yakobo n'ayogera nti, “Nguza leero eby'obukulu bwo.”
32
Esawu n'ayogera nti, “Laba, mbulako katono okufa; n'eby'obukulu biringasa bitya?”
33
Yakobo n'amugamba nti, “Ndayirira leero,” n'amulayirira, Esawu n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe.
34
Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, n'agenda. Bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50